YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 7

7
1“Era lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: Ky'ekitukuvu ennyo.#Leev 5:1-19; 6:1-7,17 2Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango; n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku njuyi zonna ez'ekyoto.#Leev 6:25 3Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda,#Kuv 29:13, Leev 3:9-11 4n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako; 5awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango. 6Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu; kye kitukuvu ennyo.#Leev 6:29, Kubal 18:9 7Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo, etteeka lyabyo lye limu; kabona anaakitangirizanga y'anaakitwalanga.#Leev 6:25,26 8Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo. 9Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.#Leev 2:4,5,7 10Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta oba ekitatabuddwamu, kinaatwalibwanga abaana ba Alooni bonna ne bakigabana kyenkanyi.
11“Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, omuntu by'anaawangayo eri Mukama.#Leev 3:1; 22:21 12Omuntu bw'anaagiwangayo olw'okwebaza, kale anaagiweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza, ey'emigaati egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta obunnyikidde.#Leev 2:4; 6:21, Kubal 6:15 13Ku ssaddaaka ey'emirembe gy'awaayo olw'okwebaza, anaaleterangako n'emigaati egizimbulukusiddwa.#Am 4:5 14Era ku ssaddaaka ey'emirembe anaawangayo omugaati gumu ku buli kiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.#Kuv 29:27,28, Kubal 18:8 15Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.#Leev 22:29,30 16Bw'anaawangayo ssaddaaka nga ya bweyamo oba gy'awaayo nga yeeyagalidde, eneeriibwanga ku lunaku olwo lw'agiwaddeyo, era eneefikkangawo eneeriibwanga n'enkya;#Leev 19:6 17naye bw'eneefikkanga okutuusa ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga n'omuliro. 18Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama taagikkirizenga nga ssaddaaka. Eneebanga ya muzizo, era omuntu anaagiryangako anaafuukanga atali mulongoofu.#Leev 19:7,8 19Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwenga; eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo, buli mulongoofu ye anaagiryangako. 20Naye omuntu atali mulongoofu bw'anaalyanga ku ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekya Mukama anaaboolebwanga okuva mu bantu be.#Leev 22:3 21Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, oba obutali bulongoofu obw'omuntu oba obw'ensolo, oba ekintu ekirala kyonna eky'omuzizo; n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ebya Mukama, anaaboolebwanga okuva mu bantu be.”#Leev 7:3; 11:1-47
22Mukama n'agamba Musa nti, 23“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Temulyanga ku masavu ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.#Leev 3:16,17 24Amasavu g'eyo efa yokka, n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo, ganaabanga ag'emirimu emirala gyonna; temugalyangako n'akatono. 25Buli alya ku masavu g'ensolo eweebwayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaaboolebwanga mu bantu be. 26Mu nnyumba zammwe zonna, temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, oba gwa nnyonyi oba gwa nsolo.#Leev 3:17 27Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, anaaboolebwanga mu bantu be.”
28Mukama n'agamba Musa nti, 29“Gamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaawangayo ssaddaaka olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekiweebwayo kye eri Mukama;#Leev 3:1 30ye yennyini anaaleetanga ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro mu ngalo ze. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama.#Kuv 29:26, Leev 3:3,4 31Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto; naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.#Leev 3:11; 9:21, Kubal 6:20 32N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe. 33Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaatwalanga ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe. 34Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nzigye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, mbiwadde Alooni kabona n'abaana be, okuba omugabo gwabwe emirembe gyonna.#Kuv 29:27,28, Leev 10:14,15, Kubal 18:18, Ma 18:3 35Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggyibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, ku lunaku lwe baafukibwako amafuta okuweereza Mukama mu bwakabona. 36Guno gwe gunaabanga omugabo gwabwe mu mirembe gyabwe gyonna.”#Kuv 40:13-15, Leev 8:12,30 37Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango, n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;#Kuv 29:1, Leev 6:9,14,20,25; 7:1,11 38Mukama lye yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yagambirako abaana ba Isiraeri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Mukama.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 7: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Eby'Abaleevi 7