YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 17

17
Enkwata n'amakulu g'omusaayi (17:1-16)
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Ekigambo kino Mukama ky'alagidde: 3Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira, 4n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekiweebwayo eri Mukama, mu maaso g'ennyumba ya Mukama; anaavunaanibwanga omusango gw'okuyiwa omusaayi, era anaaboolebwanga mu bantu be.#Ma 12:5 5Abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe ze babadde baweerayo mu ttale mu bbanga, bazireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.#Leev 3:2, Ez 20:28 6Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.#Kuv 29:18 7Abaisiraeri balemenga okwongera okuba abatali beesigwa eri Mukama nga bawaayo ssaddaaka zaabwe eri ba katonda abali mu kifaananyi ky'embuzi ennume. Eryo linaabanga tteeka gyebali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.”#Ma 31:6
8“Era onoobagamba nti, Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bannamawanga atuula mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, 9n'atakireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu bantu be.”
10“Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku munnaggwanga atuula mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange ku ye, era ne muboola okuva mu bantu be.#Leev 3:17; 20:3,6, 1 Sam 14:33, Yer 44:11, Ez 14:8 11Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri buba mu musaayi, era ngubawadde okutangiriranga obulamu bwammwe ku kyoto; kubanga omusaayi gwe gutangirira obulamu.#Bar 5:9, Bef 1:7, Bak 1:20, Beb 9:22; 13:12, 1 Yok 1:7, Kub 1:5 12Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti, Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, newakubadde mu nnaggwanga anaatuulanga mu mmwe.”
13“Omuisiraeri yenna, oba munnaggwanga abeera mu Baisiraeri, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako enfuufu.#Ma 12:16, Ez 24:7 14Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi gwakyo; kye nnava ŋŋamba aba Isiraeri nti, Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna, kubanga obulamu bw'ekirina omubiri kyonna buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.”#Lub 9:4 15“Buli muntu, oba nzaalwa oba munnaggwanga anaalyanga ku nsolo efa yokka oba etaaguddwa ensolo, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, n'alyoka aba mulongoofu.#Leev 15:5; 22:8; 24:22, Ma 14:21 16Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukirivu bwe.”#Kubal 19:20

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 17: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in