YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 16

16
Olunaku lw'okutangirirako (16:1-34)
1Mukama n'ayogera ne Musa, nga babiri ku batabani ba Alooni bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.#Leev 10:1,2 2N'amugamba nti, “Gamba Alooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde mu watukuvu, munda w'eggigi, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku ssanduuko aleme kufa; kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.#Kuv 25:22; 30:10; 40:34, 1 Bassek 8:10-12, Beb 9:5,7,25 3Alooni anaajjanga na bino mu watukuvu: ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.#Leev 1:10; 4:3 4Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkuffiira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala 5Ekibiina ky'abaana ba Isiraeri kinaaleetanga embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ne Alooni anaaleetanga ente ennume eyiye ku bubwe, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, okwetangirira ye n'ennyumba ye.”#Leev 4:23, Kubal 29:11
6“Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.#Leev 9:7, Beb 5:3; 7:27-28; 9:7 7Awo anaaddiranga embuzi zombi n'azireeta mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 8Anaazikubiranga obululu. Akalulu akamu ka Mukama n'ak'okubiri ka Azazeri.#16:8 Azazeri: Kyalowoozebwanga nti emizimu gibeera mu ddungu. Kyokka ekigambo kino tekimanyiddwa makulu matuufu. 9Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 10N'embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneeretebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu okumutangirira era eneesindiikirizibwanga eri Azazeri mu ddungu.”
11“Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, n'agitta ne yeetangirira ye n'ennyumba ye. 12Awo anaaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa obulungi ennyo n'abireeta munda w'eggigi.#Leev 10:1, Kubal 16:46, Kub 8:3,5 13Anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka gwabwo gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa aleme okufa.#Kuv 25:21,22 14Awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ku ludda olw'ebuvanjuba; era n'agumansira n'engalo ye mu maaso g'entebe ey'okusaasira emirundi musanvu.#Leev 4:5,6, Beb 2:17; 9:7,13,25 15Awo anaattanga embuzi ey'abantu ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi n'akola nga bwakoze ku musaayi gw'ente ennume, ng'agumansira ku ntebe ey'okusaasira ne mu maaso gaayo, 16era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna; era bw'atyo bw'anaakolanga n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu bo olw'obutali bulongoofu bwabwe.#Kuv 29:36, Ez 45:18 17So temubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Alooni ayingidde mu watukuvu okutangirira, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okwetangirira ye, n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri.#Luk 1:10,21 18Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira; n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.#Leev 1:5; 4:18,24, Ez 43:20 19N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.#Ez 43:18 20Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu;#Ez 45:20, Leev 23:32 21awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agikwasa omuntu ateekeddwateekeddwa, n'agisindiikiriza mu ddungu.#Is 53:6, Beb 10:3, 2 Kol 5:21 22Embuzi eyo eneettikkanga obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu; kale embuzi anaagiteeranga eyo mu ddungu.”#Is 53:11, Beb 9:28
23“Awo Alooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambulamu ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo;#Leev 6:11 24awo anaanaabanga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.#Leev 16:3,5 25N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.#Kuv 29:13, Leev 4:8-10 26Omuntu oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.#Leev 15:5; 16:8,10 27Ente ennume n'embuzi ezagiddwako omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.#Leev 4:11,12, Beb 13:11 28N'omuntu oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.”
29“Era lino linaabanga etteeka gye muli emirembe gyonna. Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'omusanvu, muneebonerezanga, so temukolanga mulimu gwonna; enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe;#Kuv 12:49, Leev 23:27, Kubal 29:7, Is 58:3,5 30kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga ebibi byammwe byonna okuba abalongoofu mu maaso ga Mukama.#Yer 33:8, Ez 36:25, Beb 10:1,2 31Olunaku olwo ye Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako gye muli, era muneebonerezanga; eryo lye tteeka ery'emirembe gyonna.#Leev 23:32 32Era kabona, anaafukibwangako amafuta, era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga ng'ayambadde ebyambalo ebitukuvu ebya bafuta;#Kuv 29:29,30, Leev 16:4, Kubal 20:28 33era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina. 34Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka.” Musa n'akola byonna, nga Mukama bwe yamulagira.#Kuv 30:10, Beb 9:7,25

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 16: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in