Yoswa 16
16
1Akalulu bwe kakubwa abaana ba Yusufu ne baweebwa obutaka bwabwe, nga buva ku mugga Yoludaani kumpi ne Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eriva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka e Beseri;#Yos 18:12 2n'okuva e Beseri okutuuka e Eruzi, ne bayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi;#Lub 28:19, Yos 18:13 3ensalo n'ekka ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'Abayafuleti, neyeyongerayo okutuukira ddala e Besukolooni eky'emmanga, okuva awo neyeyongerayo okutuuka e Gezeri n'ekoma ku nnyanja eyawakati. 4Bazzukulu ba Yusufu abasibuka mu Efulayimu ne Manase, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga obutaka bwabwe. 5N'ekitundu ky'abaana ba Efulayimu kye bafuna ng'enda zaabwe bwe zaali, kyali bw'ekiti: ensalo ey'obutaka bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu;#Yos 18:13 6neyeyongerayo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi mu bukiikakkono; neva awo neyetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka e Taanasusuro, n'ekiyitako netuuka e Yanoa ku luuyi olw'ebuvanjuba.#Yos 17:7 7N'eva e Yanoa n'ekka neyita e Atalosi, ne Naala, neyongerayo n'etuuka e Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani. 8Okuva e Tappua ensalo neyeyongera ebugwanjuba netuuka ku mugga Kana, neyeyongerayo n'ekoma ku nnyanja eyawakati. Buno bwe butaka bw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;#Yos 17:8,9 9wamu n'ebibuga ne byalo byabyo, ebyaweebwa abaana ba Efulayimu nga biri mu butaka bw'abaana ba Manase. 10Naye tebagobamu Bakanani abaali mu Gezeri: wabula Abakanani ne babeera wamu nab'Efulayimu, okutuusa kati, ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.#Yos 17:13
Currently Selected:
Yoswa 16: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.