Yeremiya Ennyanjula
Ennyanjula
Nnabbi Yeremiya yaliwo mu kitundu ekisembayo eky'omulembe ogw'omusanvu ne mu kitundu ekisooka eky'omulembe ogw'omukaaga, nga Kristo tannazaalibwa. Ebiseera bya Yeremiya byalimu entalo nnyingi nnyo nga obwakabaka obuggya buwamba obukadde. Obwakabaka bwa Yuda bwesanga buli wakati w'obuzibu obwo. Yeremiya yatandika obuweereza bwe nga nnabbi nga akyali muto, emyaka nga abiri (20) era mu mulimu guno ogw'obwannabbi gwe yakolera ebbanga eggwanvu, yalabula abantu ba Katonda akabi akaali kajja okugwira eggwanga lyabwe, olw'e kibi eky'okusinza ebitali Katonda. Bye yalanga byatuukirira nga akyali mulamu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yazikiriza ekibuga Yerusaalemi, awamu n'ennyumba ya Katonda, n'atwala kabaka wa Yuda n'abantu bangi nga basibe e Babbulooni. Yeremiya era yalanga nti bwe waliyitawo emyaka nsanvu (70), abantu balidda okuva mu buwaŋŋanguse, era nti eggwanga lyabwe liriddawo buggya. Obubaka bwa Yeremiya bwalinga mu bintu ebirabikako byeyakozesanga nga ebyokulabirako, abantu basobole okutegeera obulungi. Ekitabo kya Yeremiya kiyinza okwawulwamu ebitundu bino: okuyitibwa kwa Yeremiya essuula 1, obubaka bwa Katonda eri obwakabaka bwa Yuda essuula 2-20, enkomerero y'obufuzi bwa Dawudi essuula 21-24, ensonga lwaki obwakabaka bwe Babbulooni bwali bugenda okufuga amawanga, essuula 25-29, ebisuubizo by'okuzibwawo kw'obwakabaka bwa Yuda essuula 30-33, ebyafaayo ebyayongerwako nga bifa ku kuwambibwa kwa Yerusaalemi, ne ku kutwalibwa kw'abantu mu busibe e Babbulooni, essuula 34-45, obubaka bwa Mukama obufa ku mawanga ag'enjawulo, essuula 46-51, ebyayongerwa ku kugwa kwa Yerusaalemi essuula eya 52. Yeremiya yali muntu alumirwa ennyo abantu be. Ekitabo kino kyawandiikibwa awo wakati wa 627 ne 586 BC.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1-19).
II. Isiraeri amenya endagaano (2:1—6:30).
III. Ediini enkyamu n'abantu abasinza ebitali Katonda (7:1—10:25).
IV. Yeremiya ne Katonda era ne Yuda (11:1—20:18).
V. Ebyatuuka ku Yeremiya (21:1—29:32).
VI. Okuzibwawo kwa Yuda ne Isiraeri (30:1—33:26).
VII. Katonda asalira Yuda omusango (34:1—45:5).
VIII. Omusango gwa Katonda ku mawanga (46:1—51:64).
IX. Okufundikira: Okugwa kwa Yerusaalemi (52:1-34).
Currently Selected:
Yeremiya Ennyanjula: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.