YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 1

1
Ennyanjula
(1:1-19)
1Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya omu ku bakabona abaali mu kibuga Anasosi mu nsi ya Benyamini,#Yer 32:7, Ez 1:3 2eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogw'okufuga kwe.#2 Bassek 22:1; 23:30, Yer 25:3 3Era kyajja ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusiza ddala ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.#2 Bassek 23:34—24:6; 24:17—25:11, Yer 25:1; 39:2
Okuyitibwa kwa Yeremiya
4Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kigamba nti, 5“Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nnakutukuza; era nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.”#Is 44:2; 49:6
6Awo nze ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! Laba, siyinza kwogera, kubanga ndi mwana muto.”#Kuv 4:10 7Naye Mukama n'aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana muto;’ kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga. 8Tobatyanga, kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.”#Kuv 3:12, Yer 15:20, Ez 2:6; 3:9, Bik 18:9,10 9Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti, “Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.#Is 6:7, Ez 2:9 10Laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba.”#Yer 18:7; 31:28, 2 Kol 10:5
Okulabikirwa okw'emirundi ebiri
11Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuggo ogw'omulozi.”#Am 7:8 12Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.” 13Awo Mukama naayogera nange omulundi ogwokubiri n'aŋŋamba nti, “Olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba entamu eyeesera; ng'etunudde e bukiikakkono.”#Yer 4:6; 6:1,22, Ez 24:3 14Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Okusinziira obukiikakkono obubi bulifubutuka, okutuuka ku bantu bonna abali mu nsi. 15Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka ab'omu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.#Yer 25:9; 39:3 16Era ndyatula emisango gyange gyebali, olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza ebyo bye baakola n'engalo zaabwe bo.#2 Bassek 22:17, Is 2:8, Yer 4:12; 19:4; 25:6,7, Bik 7:41, Ez 3:9 17Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira; tokeŋŋentererwanga gyebali, nange nneme okukukeŋŋenterererwa mu maaso gaabwe. 18Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu bonna ab'omu nsi. 19Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe, okukuwonya,” bw'ayogera Mukama.#Yer 6:27; 15:20

Currently Selected:

Yeremiya 1: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in