YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 33

33
Ebirala Mukama bye yasuubiza
1Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya omulundi ogwokubiri, bwe yali ng'akyasibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti,#Yer 32:1 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama eyatonda ensi, Mukama eyagibumba, n'aginyweza, Mukama lye linnya lye nti;#Kuv 6:3 3Mpita, nange nnaakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebikisiddwa by'otomanyi.”#Zab 91:15, Is 48:6, Yer 29:12 4Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, nti, ennyumba ez'omu kibuga kino, n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ziryabizibwa ne zifuuka olw'okuzingizibwa n'okulumbibwa.#Yer 32:24 5Abakaludaaya bajja okulwana era n'okubajjuza emirambo gy'abantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, kubanga ekibuga kino nkikwese amaaso gange, olw'obubi bwabwe bwonna bwe bakoze.#Ma 31:17,18 6Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira obungi bwenkulakulana ne mirembe.#Yer 30:17 7Era ndizzaawo emikisa gya Yuda ne n'emikisa gya Isiraeri, era ndibazimba nga bwe baali olubereberye.#Is 1:26, Yer 24:6 8Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.#Yer 31:34, Ez 36:25, Beb 9:13,14 9N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo, n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'okukulakulana kwe ndibawa.#Yer 13:11 10“ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, mu kifo kino kye mwogerako nti, ‘Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo,’ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise, nga temuli muntu, newakubadde azibeeramu, newakubadde ensolo, muliddamu okuwulirwa, 11eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti, Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera; n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndizzawo emikisa mu nsi eno, nga bwe byali olubereberye,” bw'ayogera Mukama w'eggye.#Leev 7:12, 1 Byom 16:34, Zab 107:22, Is 12:4, Yer 7:34 12“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu wadde ensolo, era mu bibuga byakyo byonna, muliddamu okubaamu amalundiro, n'olusiisira abasumba mwe bagalamiza ebisibo byabwe.#Is 65:10, Yer 31:24; 50:19, Ez 34:14 13Mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi, ne mu bibuga eby'obukiikaddyo, mu nsi eya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda, ebisibo biriddamu okuyita wansi w'omukono gw'oyo abibala,” bw'ayogera Mukama.#Yer 17:26, Yok 10:3
14“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekisuubizo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda.#Yer 23:5,6 15Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alikola eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu.#Is 4:2; 11:1 16Mu nnaku ezo Yuda alirokoka, ne Yerusaalemi kirituula mirembe. Era lino lye linnya lye kirituumibwa, nti, ‘Mukama bwe butuukirivu bwaffe.’” 17“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku nnamulondo ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;#1 Bassek 2:4, Zab 89:3,4 18so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka emirembe gyonna.”#Is 66:21 19Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, 20#Yer 31:36,37 “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana, n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;#Lub 8:22 21era bwetyo ne ndagaano yange n'omuddu wange Dawudi eyinza okumenyebwa, aleme okuba n'omwana okufugira ku nnamulondo ye, n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.”#Zab 89:34 22Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinzika kubalibwa, era ng'omusenyu ogw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.#Lub 22:17 23Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, 24“Weetegereza abantu bano bye boogedde nti, Enda#33:24 Enda kitegeeza obwakabaka. zombi Mukama ze yalonda azisudde? Bwe batyo bwe banyooma abantu bange, nga tebekyababala nga eggwanga mu maaso gaabwe. 25Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwemba nga sanyweza ndagaano yange ey'emisana n'ekiro, oba nga ssa ssaawo biragiro by'eggulu n'ensi; 26kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, ne sironda omu ku be zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Ddala ndizaawo emikisa gyabwe, era ndibasaasira.”

Currently Selected:

Yeremiya 33: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in