Yeremiya 32
32
Yeremiya agula ennimiro
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi (10) nga Zeddekiya ye kabaka wa Yuda, era gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) nga Nebukadduneeza ye kabaka we Babbulooni.#Yer 39:1,2 2Awo mu kiseera ekyo eggye lya kabaka w'e Babbulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi; ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.#Yer 33:1; 37:21; 39:14 3Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti, “Lwaki olagula n'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikiwamba;#Yer 34:2,3 4ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye aliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, era alimulaba maaso ku maaso; 5era alitwala Zeddekiya e Babbulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjukira, bw'ayogera Mukama; newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, naye temujja kuwangula.’ ”#Yer 39:7
6Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti, 7Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti, ‘Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi, kubanga okuginunula kukwo.’#Leev 25:25, Luus 4:4, Yer 1:1 8Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, n'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini, kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; gye gulire ku lulwo.’ Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama. 9Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi okuva ku Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu (17).#Lub 23:16, Zek 11:12, Mat 26:15 10Ne nteeka omukono ku ndagaano, ne ngissako akabonero, ne mpita abajulizi ne mmupimira effeeza mu minzaani. 11Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri, ne ndala nga si nsibe, 12ne mpaayo endagaano y'obuguzi eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali, n'abajjulizi nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku ndagaano y'okugula, mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.#Is 8:2, Yer 36:4 13Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti, 14‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Twala endagaano zino, endagaano ey'obuguzi ensibe, n'eteri nsibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; zisobole okukuumibwa ebbanga eggwanvu. 15Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu ne biddamu nate okugulibwa mu nsi eno.’ ”
Okusaba kwa Yeremiya
16Awo nga mmaze okuwaayo endagaano ey'obuguzi, eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mukama nga njogera nti, 17Ayi Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema,#Lub 18:14, Is 37:16 18olaga abantu enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo. Ayi Katonda omukulu era ow'amaanyi, Mukama w'eggye lye linnya lye,#Kuv 20:6, Is 9:6; 65:6,7, Yer 10:16 19omukulu mu kuteesa era ow'amaanyi mu bikolwa; amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri.#Zab 66:3,5, Is 28:29, Yer 16:17; 17:10 20Walaga obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri, n'okutuusa leero mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; weekolera erinnya nga leero. 21wa ggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'ebyewuunyo n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa ennyingi; 22n'obawa ensi eno gye walayirira okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; 23era bagiyingira ne bagitwala. Naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola. N'olwekyo ky'ovudde obaleetako obubi buno bwonna. 24Laba entuumo, zituuse mu ekibuga okukiwamba; era olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaladaaya abakirwanyisa; era, laba ebyo bye wayogera bituukiridde; era, laba naawe obirabye. 25Era oŋŋambye, ayi Mukama Katonda, nti, “Weegulire ennimiro n'ebintu, era oyite abajulizi; newakubadde nga ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.” 26Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, 27“Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri; waliwo ekigambo kyonna ekinnema?”
28Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gy'Abakaludaaya ne mu mikono gya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era alikiwamba. 29Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza omuliro ne bakyokya, era balyokya n'ennyumba, abantu gye baayoterezanga Baali obubaane ku busolya bwazo, era n'ebiweebwayo eby'okunnywa gy'ebyafuukirwanga eri ba katonda abalala, nga bansomooza okunsunguwaza. 30Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda tebalina kye bakoze wabula ebibi ebyereere mu maaso gange okuva mu buto bwabwe; era abaana ba Isiraeri tebalina kye bakoze wabula okunsomooza nga bansunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe bw'ayogera Mukama. 31Kubanga kibuga kino kyasikuula obusungu bwange n'ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa, okutuusa ne leero; bw'entyo ndikiggya mu maaso gange,#2 Bassek 23:27 32olw'obubi bwonna abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Yuda bwe baakola okunsomooza okunsunguwaza, awamu ne bakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi.#Yer 2:26 33Era bankubye enkoona, ne bankweka amaaso; newakubadde nga nnabayigiriza, obutasalako, naye tebaawuliriza basobole okuyiga.#Yer 2:27; 7:13, Ez 8:16 34Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba, eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.#Yer 7:30 35Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, balyoke bayisenga batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro, eri Moleki; kye sibalagiranga, so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa abantu ba Yuda.#Leev 18:21, 1 Bassek 16:19, Yer 7:31
Essuubi
36“Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, ebikwata ku kibuga kino kye mwogerako nti, ‘Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, olw'ekitala, n'enjala ne kawumpuli;’ 37naye laba, nze ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi; era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mu mirembe,#Yer 21:5, Ez 34:25 38era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe.#Yer 30:22; 31:33 39Ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu, bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo.#Ez 11:19 40Ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, nga siriddayo kukyuka kuleka kubakola bulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.#Is 55:3, Ez 16:60 41Weewaawo, ndisanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna.”#Yer 24:6 42“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nga bwe ndeese obubi buno obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.#Yer 31:28 43Kale ennimiro zirigulwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; era eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.#Yer 32:15; 33:10 44Abantu baligula ennimiro n'ebintu, endagaano ne zinassibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero ne bayita n'abajulizi mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukkiikkaddyo; kubanga ndizzawo emikisa gyabwe, bw'ayogera Mukama.”#Yer 17:26; 30:3
Currently Selected:
Yeremiya 32: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: