Yeremiya 34
34
Katonda asalira Yuda omusango (34:1—45:5)
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, nga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'eggye lye lyonna, n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala, n'abantu bonna abaali balwanyisa Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebikiriraanye.#2 Bassek 25:1, Yer 1:15 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alikyokya omuliro,#2 Bassek 25:2, Yer 21:10 3so naawe toliwona mu mukono gwe, oliwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; era oliraba kabaka w'e Babbulooni maaso ku maaso, era alyogera naye akamwa ku kamwa, era oligenda e Babbulooni.’ 4Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ayi Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama, ebikukwatako nti, ‘gwe tolifa na kitala;#Yer 38:17,20 5naye olifa mu mirembe. Era ng'abantu bwe baayotereza obubaane bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo naawe bwe balikwotereza obubaane; era balikukungubagira nga boogera nti, Woowe, Mukama waffe!’ Kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera.”#2 Byom 16:14; 21:19, Yer 22:18 6Awo Yeremiya nnabbi n'agamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi, 7eggye lya kabaka w'e Babbulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye bibuga bya Yuda ebyali bisigaddewo ebiriko enkomera.
Okuta abaddu okw'obukuusa
8Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, oluvannyuma lwa kabaka Zeddekiya okukola endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangirirako eddembe;#Kuv 21:2 9buli muntu ate abaddu be Abaebbulaniya, oba basajja oba bakazi, waleme okubeerawo afuula Omuyudaaya muganda we omuddu.#Leev 25:39-46, Nek 5:8 10Awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata, 11naye oluvannyuma ne bakyuka, ne bakomyawo abaddu n'abazaana be baali batadde, ne babafuga okuba abaddu n'abazaana. 12Ekigambo kya Mukama kyekyava kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti, 13“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti, 14‘Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli;’ naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe.#Ma 15:12 15Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange;#2 Bassek 23:3 16naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana.#Leev 18:21 17Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangirira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne; laba, nze nnangirira ku mmwe eddembe, eri ekitala, n'eri kawumpuli, n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka.#Yer 14:12; 15:4, Bag 6:7, Yak 2:13 18Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo;#Lub 15:10 19abakungu ba Yuda n'abakungu ba Yerusaalemi, abalaawe ne bakabona n'abantu bonna ab'omu nsi abaayita wakati w'ebitundu by'ennyana; 20okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, n'emirambo gyabwe giriba mmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n'eri ensolo ez'omu nsi.#Yer 7:33; 22:25, Yer 37:5,11 21Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be, ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni ababavuddeko abambuse. 22Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro, era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.”#Is 10:6, Yer 9:11; 37:8
Currently Selected:
Yeremiya 34: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: