Yeremiya 31
31
Katonda alifuula ennaku okuba essanyu
1“Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.”#2 Kol 6:18 2Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu abaawona ekitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe yeegomba ekiwummulo.#Is 63:14 3Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti, Weewaawo, Isiraeri nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo; kyenvudde nnyongera okukukwatirwa ekisa.#Ma 7:8, Kos 11:4, Mal 1:2, Bar 11:28 4Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri, olyambalira nate ebitaasa byo, olifuluma nga muzina era nga musanyuka.#Kuv 15:20, 2 Sam 6:14, Is 61:10, Yer 33:7 5Olisimba nate ensuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya; abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu.#Is 65:21, Am 9:14 6Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikoowoola nti, ‘Musituke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.’ ”#Is 2:3; 27:13 7Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muyimbe n'essanyu olwa Yakobo, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga, mulange, mutendereze, mwogere nti, ‘Mukama alokodde abantu be, aba Isiraeri abawonyeewo.’#Zab 118:25, Is 12:6; 65:18 8Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi, era awamu nabo omuzibe w'amaaso, n'awenyera, omukazi ali olubuto, n'oyo alumwa okuzaala, balikomawo wano ekibiina kinene.#Yer 3:18; 6:22 9Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira; ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira, kubanga ndi kitaawe wa Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.#Kuv 4:22, Is 43:19; 49:10,11, Yer 3:21; 50:4, Zek 12:10, Bar 8:15
10“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti, ‘Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye.’#Is 40:11, Yer 23:3 11Kubanga Mukama yeyimiridde Yakobo, era amununudde okumuggya mu mukono gw'oyo amusinga amaanyi.#Is 43:1; 49:24,25 12Kale balijja ne bayimbira waggulu ku ntikko ya Sayuuni, era balisanyukira obulungi bwa Mukama, era ne ŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta, n'abaana b'embuzi n'ab'ente; n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, era tebalibaako buyinike nate n'akatono.#Ma 12:17, Is 2:2; 35:10; 58:11, Kos 3:5 13Awo abawala balisanyuka ne bazina, abalenzi n'abasajja abakadde nabo balisanyuka, kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.#Yok 16:20 14Era ndinyiya emmeeme za bakabona n'amasavu, n'abantu bange balikkutta n'obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.”#Zab 36:8
Ekisa kya Mukama ku Isiraeri
15Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tebakyaliwo.”#Mat 2:18 16Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n'amaaso go galeme okuleeta amaziga; kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.#Ezer 1:5, Kos 1:11 17Waliwo essuubi mu biseera byo ebijja, bw'ayogera Mukama, n'abaana bo balikomawo mu nsi yaabwe bo.#Yer 29:11 18Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti, ‘Onkangavvudde ne nkangavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkomyawo nange nnazzibwawo, kubanga ggwe Mukama Katonda wange.#Kung 5:21 19Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange, n'akwatibwa ensonyi, weewaawo, n'aswala kubanga n'asitula ekivume eky'omu buto bwange.’#Ma 30:2, Yer 3:25, Ez 21:12 20Efulayimu mwana wange omwagalwa? Oli mwana ansanyusa? Kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini. N'olwekyo omwoyo gwange kye guvudde gunnuma ku lulwe; Ddala ddala ndimukwatirwa ekisa, bw'ayogera Mukama.#Lu 5:4, Is 16:11
21“Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere obulambe ku luguudo, lowooza ku kkubo eddene, oluguudo lwe waayitamu okugenda, komawo, ayi omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino.#Is 57:14, Yer 30:4,5 22Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ayi ggwe omuwala ateesigibwa? Kubanga Mukama atonze ekintu ekiggya mu nsi; omukazi okukuuma omusajja.”#Yer 2:18,23,36; 49:4
Emikisa gy'Abaisiraeri gye bujja
23Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, “Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo emikisa gyabwe nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.’#Zab 122:6,7, Is 1:26, Yer 30:3; 50:7, Zek 8:3 24Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula wamu; abalimi n'abo abatambulatambula n'ebisibo byabwe.#Yer 33:12 25Kubanga ndikusa emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ndigijjuza.”#Zab 36:8 26Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera. 27“ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo.#Ez 36:11 28Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya, okusuula, okuzikiriza era n'okuleeta obubi; bwe ntyo bwe ndibalabirira mu okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.#Yer 1:10; 24:6; 32:42; 44:27 29Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.’#Kung 5:7, Ez 18:2,4 30Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivu bwe ye; buli muntu alya ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera.
31 #
Beb 8:8-12
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda,#Luk 22:20 32si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama.#Ma 1:31, Yer 3:14 33Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era ndigawandiika mu mitima gyabwe; nange n'abanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange,#Zab 37:31, Yer 32:40, Ez 37:26, Kos 2:23, Zek 8:8, 2 Kol 3:3, Beb 10:16 34nga olwo omuntu takyayigiriza munne, na buli muntu muganda we nga boogera nti, ‘Manya Mukama,’ kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama, kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.”#Is 43:25; 54:13, Yer 33:8; 50:20, Mi 7:18, Bik 10:43, Bar 11:27, Beb 10:17 35Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti,#Yer 10:16 36“Singa ebiragiro bino eby'enkalakalira biva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirirekerawo okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.”#Zab 148:6, Is 54:9,10, Yer 33:24-26 37Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.”#Bar 11:1 38“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.#Zek 14:10 39Era omugwa ogugera gulireegebwa butereevu okuva eyo okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.#Lub 23:16, Zek 11:12, Mat 26:15 40N'ekiwonvu kyonna, eky'emirambo n'ekyevvu, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, n'okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama. Ekibuga ekyo tekirisimbulwa nate so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.”#Is 52:1, Yer 7:31,32
Currently Selected:
Yeremiya 31: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: