Ekyabalamuzi 13
13
Okuzaalibwa kwa Samusooni
1Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abawaayo okufugibwa Abafirisuuti okumala emyaka ana (40).#Yos 13:2,3, Balam 2:11; 10:7, 1 Sam 12:9
2Waaliwo omusajja ow'e Zola ow'omukika kya Daani, erinnya lye Manowa; eyalina mukazi we nga mugumba.#Lub 11:30, Yos 19:41, 1 Sam 1:2, Luk 1:7 3Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti, “Laba nno, oli mugumba so tozaala; naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi.#Balam 6:12, Luk 1:11,13 4Kale nno weekuume, nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu,#Kubal 6:1-5, Balam 13:14; 16:17, 1 Sam 1:11; 7:13, Luk 1:15 5kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; taamwebwengako nviiri kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto; era yalitandika okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.” 6Awo omukazi n'alyoka ajja n'abuulira bba, ng'agamba nti, “Omusajja wa Katonda azze gye ndi, amaaso ge gabadde nga aga malayika wa Katonda, nga ga ntiisa nnyo. Simubuuzizza gy'avudde naye tambuulidde linnya lye; 7era aŋŋambye nti, ‘oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; okuva kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu; kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ” 8Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma akomewo gyetuli omulundi ogwokubiri atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.” 9Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda najja eri omukazi omulundi ogwokubiri bwe yali nga atudde mu nnimiro; naye Manowa, bba, teyali naye. 10Omukazi n'agenda ng'adduka n'abuulira bba ng'agamba nti, “omusajja oli eyandabikira olulala era akomyewo gyendi.” 11Manowa n'asituka n'agoberera mukazi we, n'agenda eri omusajja n'amubuuza nti, “Ggwe musajja oli eyayogera ne mukazi wange?” N'amuddamu nti, “Ye nze.” 12Manowa n'amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, omwana alikola omulimu ki? Era obulamu bwe buliba bwa ngeri ki?”#Luk 1:66 13Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “Byonna bye nnagamba mukaziwo abyekuumanga. 14Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatanga.”#Balam 13:4,7 15Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nkwegayiridde lindako tukuteekereteekere omwana gw'embuzi omale okulya.”#Lub 18:5-8, Balam 6:19 16Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “ Nnebwenalindako sijja kulya ku mmere yo, naye bw'oba oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira kukiwa Mukama.” Manowa yali tamanyi nga oyo yali malayika wa Mukama. 17Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Tubuulire erinnya lyo, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa.”#Balam 13:6 18Malayika wa Mukama n'agamba nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Olabye nga lya kitalo?”#Lub 32:29, Is 9:6, Kub 19:12 19Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; malayika n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga balaba.#Balam 6:19-21 20Awo olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu bbanga, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogwo, Manowa ne mukazi nga balaba, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.#Leev 9:24, 1 Byom 21:16, Ez 1:28, Mat 17:6, Kub 1:17 21Malayika wa Mukama teyaddayo nate kulabikira Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga ye malayika wa Mukama.#Balam 6:22 22Manowa n'agamba mukazi we nti, “Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda.”#Lub 32:30, Kuv 33:20 23Naye mukazi we n'amugamba nti, “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikkirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta, so teyanditubuulidde bigambo ebyo byonna.” 24Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samusooni; omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa.#1 Sam 2:21; 3:19, Luk 1:80; 2:52, Beb 11:32 25Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumutwala mu Makanedani, ekiri wakati wa Zola ne Esutaoli.#Balam 3:10
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.