Ekyabalamuzi 12
12
Yefusa n'ab'Efulayimu
1Abasajja ba Efulayimu ne bategeka olutalo, ne bagenda e Zofani; ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wasomoka n'ogenda okulwana n'abaana ba Amoni, ffe n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo.”#Balam 8:1 2Yefusa n'abagamba nti, “Nze n'abantu bange twalina enkayana ey'amaanyi ennyo n'abaana ba Amoni netubayita mmwe naye ne mutajja kutuyamba. 3Awo bwe nnalaba nga temunnyambye, obulamu bwange ne mbuwaayo ne nsomoka ne ŋŋenda okulwana n'abaana ba Amoni. Mukama n'abagabula mu mukono gwange, kale kiki ekibaleese leero okulwana nange?”#1 Sam 19:5; 28:21, Yob 13:14 4Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi; ne balwana n'Abaefulayimu, Abagireyaadi ne bawangula aba Efulayimu, kubanga aba Efulayimu bayogeranga nti, “Muli abaatooloka okuva ku Efulayimu, mmwe Abagireyaadi, wakati wa Efulayimu ne Manase.” 5Aba Gireyaadi ne beekwata ebifo awasomokerwa omugga Yoludaani, awo omuntu yenna avudde mu Efulayimu, bweyayagala nga okusomoka, Abagireyaadi ne bamubuuza nti, “Oli mu Efulayimu?” Bweyaddangamu nti, “Nedda;”#Balam 3:28; 7:24 6ne balyoka bamugamba nti, “Kale yogera Shibbolesi;” n'ayogera nti, “Sibbolesi;” kubanga teyayinza kukyatula bulungi. Ne bamukwata ne bamuttira awasomokerwa Yoludaani. Mu biro ebyo Abaefulayimu mitwalo ena mu enkumi bbiri (42,000) be battibwa.#Mat 26:73
7Yefusa Omugireyaadi n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga (6) n'afa, ne bamuziika mu kibuga kye mu Gireyaadi.
Omulamuzi Ibuzaani
8Awo Yefusa ng'amaze okufa Ibuzaani Omubesirekemu n'alamula Isiraeri. 9Yalina batabani be asatu (30), ne abawala be asatu (30). Yafumbiza bawalabe asatu (30) mu bika ebirala, n'awasiza batabani be abakazi asatu (30) okuva mu bika ebirala. Yalamulira Isiraeri emyaka musanvu (7). 10Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu.
Omulamuzi Eroni
11Ibuzaani bw'eyafa Eroni Omuzebbulooni n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi (10). 12Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
Omulamuzi Abudoni
13Eroni bw'eyafa Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri. 14Yalina batabani be ana (40) n'abazzukulu be asatu (30), abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu (70). Yalamulira Isiraeri emyaka munaana (8).#Balam 10:4 15Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu kitundu eky'Abamaleki eky'ensozi.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 12: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.