Isaaya 9
9
Obunnabbi bw'okuzaalibwa kw'omwana
1 #
Mat 4:15,16 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye mu kiseera eky'oluvannyuma ndizifuula za kitiibwa, okuva ku nnyanja, emitala wa Yoludaani, okutuuka ku Ggaliraaya ey'abamawanga.#2 Bassek 15:29, 2 Byom 16:4 2Abantu abaatambuliranga mu kizikiza, balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.#Luk 1:79, Bef 5:8 3Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng'abantu bwe basanyuka mu biseera eby'amakungula, ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.#Is 26:15, Yok 4:36 4Kubanga ekikoligo ekyabazitoowereranga, n'omuggo ogwa bakubanga ku bibegabega byabwe, n'olugga lwabo ababajooganga, obimenyeemenye nga ku lunaku lwe wawangula Midiyaani.#Balam 7:19-25, Is 10:5,26,27, Nak 1:13 5Kubanga buli ngatto ya musirikale ali mu lutalo, era n'ebyambalo ebikulukuunyiziddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro. 6Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa, anaabanga mufuzi waffe. Aliyitibwa Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ow'olubeerera, omulangira ow'emirembe.#Is 7:14; 10:21; 28:29; 63:16, Yer 32:18, Mat 28:18, Luk 2:11, 1 Kol 15:25, Bef 2:14 7Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, alinyweza obwa kabaka bwe, ku musingi ogw'amazima n'obwenkanya, okuva leero n'okutuusa emirembe n'emirembe. Mukama ow'eggye amaliridde okutuukiriza ekyo.#2 Bassek 19:31, Zab 89:4, Yer 23:5, Luk 1:32,33
Omusango gwa Efulayimu
8Mukama bye yalabula bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Isiraeri. 9Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima 10nti, Ebizimbe by'amatoffaali bigudde, naye tujja kuzimbya amayinja amoole; emisukamooli gitemeddwawo, naye mu kifo kyagyo, tunaazzaawo emivule 11Mukama kyaliva akunga abalabe ba Lezini, nabawaga okumulumba. 12Abasuuli okuva ebuvanjuba n'Abafirisuuti okuva ebugwanjuba balyasamya akamwa kaabwe okumira Isiraeri. Wadde nga ebyo byonna bimaze okubaawo, obusungu bwa Mukama buliba bukyaliwo, era aliba akyagolodde omukono gwe okubabonereza.#2 Bassek 16:6, 2 Byom 28:18, Is 5:25
13Naye aba Isiraeri tebeenenya newaankubadde nga Mukama ow'eggye yabakuba, era tebaakyuka kumunoonya.#Kos 7:10 14Mukama kyaliva asala ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindu n'olumuli, ku lunaku lumu.#Ma 28:13, Is 19:15 15Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira. 16Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya, n'abo abakulemberwa babuzaabuzibwa. 17N'olwekyo Mukama tasanyukira bavubuka baabwe, era tasaasira abali mu bo abatalina bakitaabwe, wadde bannamwandu baabwe, kubanga buli muntu tamanyi Katonda era mukozi wa bibi era buli mumwa gwogera byabusirisiru. Olw'ebyo byonna obusungu bwa Mukama tebunnavaawo, era akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
18Okwonoona kw'abantu kwokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa, gukoleeza eby'omu kibira omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu. 19Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi egyiiridde ddala, era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro, tewali asonyiwa muganda we.#Mi 7:2 20Balimalawo eby'okulya eby'oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala, balirya n'eby'oku kkono, naye tebalikutta era balituuka buli muntu okulya munne.#Is 8:21 21Aba Manase n'aba Efulayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba aba Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era ng'akyagolodde omukono gwe okubabonereza.#2 Byom 28:6-8
Currently Selected:
Isaaya 9: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: