YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 10

10
1Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n'abawandiisi abawandiika ebinyigiriza abantu,#Zab 94:20, Yer 8:8 2ne balemesa abanaku okusalirwa amazima, era ne banyaga abantu bange abaavu ebyabwe, ebya bannamwandu n'eby'abafiiriddwako bakitaabwe ne mu bifuula omunyago gwammwe. 3Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa? Era mulikweka wa obugagga bwammwe?#Is 5:26, Yer 5:29 4Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okugwira mu abo abattiddwa. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunaabavaako, aliba akyagolodde omukono okubabonereza.#Is 9:12
Bwasuli okubonerezebwa
5Ggwe Busuli, oli luga lwe nkwata nga nsunguwadde, omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi.#Is 9:4 6Mutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era musindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage era atwalire ddala ebyabwe, abasambiririre ddala ng'ebitoomi eby'omu nguudo. 7Naye Busuli tagenderera kukola Nze kye njagala, era kino si ky'alowooza, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga agawerako.#Mi 4:12 8Yeewaana nga agamba nti, “Abaduumizi b'amagye gange bonna tebenkana bakabaka? 9Ekibuga Kalino tetwakiwangula nga bwe twawangula Kalukemisi? Kamasi tetwakiwangula nga bwe twawangula Alupadi? Samaliya tetwakiwangula nga bwe twawangula Ddamasiko?#2 Bassek 16:9; 17:6; 19:13 10N'omukono gwange nnafufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya.#2 Bassek 19:17,18 11Sirikola Yerusaalemi n'ebifaananyi byakyo, nga bwenakola Samaliya n'ebifaananyi byakyo?”#2 Bassek 18:34, Is 2:8
12Awo Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, n'alyoka abonereza kabaka w'e Bwasuli, olw'amalala n'okwegulumiza kwe.#2 Bassek 19:31,35-37, Is 29:4 13Kubanga agamba nti, “Bino byonna mbikoze lw'amaanyi gange, lw'amagezi gange, n'abukalabakalaba bwange. Najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwago, era ng'omusajja ne ntowaza bakabaka baabwe.#Is 37:23-25 14Amawanga ag'omu nsi nnasanganga gali ng'ekisu ky'ennyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro kyakyo, wadde okwasamya akamwa kakyo okukaaba okukanga! 15Embazzi eyinza okwewaana nti yeesiga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza okusinga oyo agusazisa? Gy'obeera nti oluga luyinza okuwuuba oyo alukozesa, oba omuggo okusitula omuntu.”#Is 29:16, Bar 9:20,21
16N'olwekyo Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obulwadde obukozza mu basajja be abalwanyi abamaanyi, era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya. 17Mukama oyo omusana gwa Isiraeri, aliba muliro. Katonda Omutukuvu wa Isiraeri, aliba nnimi ez'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo.#Ob 18 18Ekitiibwa ky'ekibira kye, n'ennimiro ye engimu, Mukama alibisaanyizaawo ddala, obulamu era n'omubiri, ng'omusajja omulwadde bwaggwerawo ddala.#Is 10:33 19N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala.
Ekitundu kya Isiraeri kirifikkawo
20Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.#2 Bassek 16:7; 19:4, Is 4:2 21Ekitundu ekirifikkawo, ekirifikkawo ku nnyumba ya Yakobo, kiridda eri Katonda ow'amaanyi.#Is 7:3 22Newaankubadde nga kaakano abantu ba Isiraeri bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, naye kitundu butundu ku bo ekirifikkawo kye kirikomawo: kubanga Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.#Is 6:13; 28:22, Dan 9:27, Bar 9:27,28 23Ddala Mukama ow'eggye alireeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga ye bwe yategeka kibeere wakati mu nsi yonna.
24N'olwekyo Mukama, Mukama ow'eggye agamba nti, Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli, newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugololera omuggo ng'Abamisiri bwe baabakola. 25Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, obusungu bwange gyoli bukome, ate obusungu bwange budde ku bo bazikirizibwe.#Is 9:6 26Mukama ow'eggye alibakuba bonna nababonereza, nga bwe yattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Olebu. Era aligololera omuggo gwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri.#Kuv 14:16,23,27, 2 Bassek 19:35, Is 9:4 27Awo olulituuka ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggibwa ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye kirizikirizibwa okuva mu bulago bwo. Ekikoligo kirikutulwa olw'obugevvu bwo.
28Laba eggye ly'omulabe lituuse liwambye Yayasi, liyise mu Miguloni, era emigugu gyabwe bagiterese e Mikumasi. 29Bayisizza awavvuunukirwa; basuze e Geba. Abe Laama bakankana olw'okutya. Abe Gibeya ekya Sawulo badduse. 30Kaaba n'eddoboozi ery'omwanguka ggwe muwala wa Gallimu! Wulira, ggwe Layisa! Nga zikusanze ggwe Anasosi! 31Ab'e Madumena badduse, n'ab'omu Gebimu badduse olw'okwewonya. 32Olwa leero omulabe ajja kusibira e Nobu, alifunya ekikonde nga akyolekeza olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi.
33Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikkakkanyizibwa.#Is 10:18, Ez 31:3, Nak 1:12 34Mukama alitemera ddala ebisaka by'omu kibira n'embazzi, ne Lebanooni ne miti gyakyo egy'ekitiibwa kirigwa.

Currently Selected:

Isaaya 10: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in