YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 8

8
Akabonero ka Makeru-salalu-kasubazi
1Mukama n'aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko munnukuta ennene, nti Kya Makeru-salalu-kasubazi.#Kaab 2:2#8:1 Makeru-salalu-kasubazi Mu Lwebbulaniya kitegeeza, Kunyaga mu bwangu, kunyakula. 2Nange nnaleeta Uliya kabona, ne Zekkaliya mutabani wa Yeberekiya, okuba abajulizi bange okukikakasa.”#2 Bassek 16:10 3Awo ne neegatta, nnabbi omukazi, n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti, “Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasubazi. 4Kubanga omwana oyo aliba nga tannamanya kuyita nti, Taata oba nti, Maama, obugagga obw'e Ddamasiko, n'ebyo byonna Samaliya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka w'e Bwasuli.”#Is 7:16
5Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala n'aŋŋamba nti, 6“Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi g'akagga Sirowa agakulukuta empola, ne basanyukira Lezini ne Peka mutabani wa Lemaliya;#Yok 9:7 7kale nno, Nze Mukama nja kuleeta ku bo amazzi amangi ag'amaanyi ag'Omugga, Fulaati, ye kabaka w'e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: amazzi ago galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.#Is 7:20 8Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Yuda; galyanjaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi eyo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Imanueri.”#Is 7:14
9Muyoogaane, mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. 10Muteeseze wamu kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, mwogere ekigambo, naye tekijja kuyimirira, kubanga Katonda ali wamu naffe.
Mukama Alabula Isaaya
11Mukama yayogera nange bw'atyo mu buyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'agamba nti, 12“Ekyo abantu bano kye bayita okwekobana, ggwe tokiyita kwekobana, era totya bye batya, era tokankana.”#Is 7:2, 1 Peet 3:14 13Naye Mukama ow'eggye, oyo gwe muba mutwala nga omutukuvu, oyo gwe muba mutya, era oyo gwe muba mukankanira.#Kubal 20:12 14Era alibafuukira ekifo ekitukuvu mwe muliwonera, naye eri ennyumba zombi eza Isiraeri, aliba ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi kwe balyekoona ne bagwa, era nelibafuukira omutego n'ekyambika abo bonna abatuula mu Yerusaalemi.#Ez 11:16, Bar 9:33, 1 Peet 2:8 15Bangi abalyesittala ne bagwa, ne bamenyeka, balitegebwa ne bakwasibwa.#Is 28:13, Mat 21:44
16Nyweza obujulirwa, ssa envumbo kw'ebyo ebiyigiriziddwa abayigirizwa bange.#Is 8:1,2 17Nange nnaalindirira Mukama, akwese amaaso ge okuva mu ennyumba ya Yakobo, mu oyo mwe nnina essuubi.#Is 1:15, Kaab 2:3 18Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde tuli bubonero na byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.#Leev 19:31, 1 Sam 28:11-14, 2 Bassek 23:24, Is 19:3
19Abantu bwe babagambanga nti, Mubuuze abo abaliko emizimu n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinnyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu babibuuza bafu? 20Amateeka n'obujulirwa! oba nga tebyogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, nga batunudde waggulu, 22era bwe balitunuula wansi ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.#Is 5:30, Nak 1:8

Currently Selected:

Isaaya 8: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in