Isaaya 4
4
1Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti, “Ffe tuneenoonyezanga emmere n'eby'okwambala, naye kkiriza tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume eky'obutafumbirwa.”#Lub 30:23, Is 3:6
Yerusaalemi kizzibwa obuggya
2Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biriba birungi era biriwoomera nnyo abaliba bawonyeewo mu Isiraeri.#Is 11:1; 27:6, Yer 23:5; 33:15, Zek 3:8; 6:12 3Buli aliba asigaddewo mu Sayuuni, n'oyo aliba asigaddewo mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, buli muntu aliwandiikiddwa mu balamu mu ab'omu Yerusaalemi.#Kuv 32:32, Zab 69:28, Is 6:13; 10:20, Luk 10:20 4Mukamamu buyinza bwe alinaaliza ddala obubi bwa abawala ba Sayuuni, era alinaaza ku Yerusaalemi omusaayi n'omwoyo ogw'okulamula, n'omwoyo ogw'omuliro.#Ez 36:25, Mal 3:2, Mat 3:11 5Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ne ku bantu abakikuŋŋaaniddeko, ekire emisana n'omukka, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.#Kuv 13:21,22 6Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, era kiriba kifo mwekwekebwa okuwona kibuyaga n'enkuba.#Zab 27:5, Is 25:4
Currently Selected:
Isaaya 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.