Isaaya 3
3
1Kubanga, laba, Mukama, Mukama ow'eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza
n'ekyo kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna eky'emmere,
n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;#Leev 26:26, Ez 4:16
2omusajja ow'amaanyi, n'omusirikale,
omulamuzi ne nnabbi,
n'omulaguzi n'omukadde,
3omukulu ow'ataano (50),
n'ow'ekitiibwa,
n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi
n'omufumu omukalabakalaba.
4Era ndireeta abalenzi okuba abalangira baabwe,
era abaana abawere balibafuga.#Mub 10:16
5Era abantu balijoogebwa,
buli muntu alijooga munne,
na buli muntu muliraanwa we;
omuvubuka aligirira ekyejo omukadde,
n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.#Mi 7:2,6
6Omuntu bw'alikwata muganda we
mu nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera
nti “Ggwe olina eby'okwambala,
beera mufuzi waffe ggwe,
ne ntumu ya bino ebyonoonese,
bibeere wansi w'omukono gwo,”
7Naye ku lunaku olwo aliddamu nti, “Si nze nnaaba ow'okubawonya, kubanga mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo: Temunnonda kubakulira.”
8Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga bye boogera n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, bityoboola ekitiibwa kye.#Is 65:3
9Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodomu, tebabikisa. Zibasanze, kubanga bo bennyini be beereetedde obubi.
10Mugambe abatuukirivu nti bo tebabeeko mutawaana, kubanga balirya ebibala bye bikolwa byabwe.
11Zisanze omubi! anaabanga bubi, kubanga emikono gye kye gy'akola, naye kyalikolebwa.#Mub 8:13
12Abantu bange bajoogebwa abaana abato, era abakazi be babafuga! Woowe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, baabaggya mu kkubo ettuufu.
Mukama asalira abantu be omusango
13Mukama ayimiridde mu kifo kye okuwakanya, ayimiridde okusalira abantu be omusango.#Kos 4:1 14Mukama anaasalira omusango abakadde n'abakulembeze b'abantu be. Abalumiriza bw'ati, “Mmwe munyaguludde ensuku z'emizabbibu; era bye munyaze ku baavu biri mu nnyumba zammwe:#Zab 14:4, Am 3:10 15mubadde mutya mmwe ababetenta abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu? Bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.”#Zab 94:5, Mi 3:3
16Mukama agamba nti, “Abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo, era nga batunuza bukaba, batambula basiira nga bakoona engatto zaabwe.” 17Mukama kyaliva afuula emitwe gy'abawala ba Sayuuni egy'ebiwalaata, baswale. 18Ku lunaku olwo Mukama alibaggyako byonna eby'obuyonjo ebibaleetera okwekulumbaza: bye bambala ku bukongovvule, bye batikkira ku mitwe gyabwe, ne bye beenaanika mu bulago, 19ne ku mikono gyabwe, n'ebitambaala bye beebikkirira mu maaso, 20eby'oku mitwe, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'embira ze beesiba mu biwato; 21empeta ze beenaanika ku ngalo, ne ze beetunga mu nnyindo;#Lub 24:47 22engoye ez'ebbeeyi, n'eminagiro, n'essuuka ze beesuulira, n'ensawo ez'omu ngalo; 23endabirwamu, n'engoye ez'obutimba, n'ezo enjeru ennungi, n'obutambaala obwo ku mutwe, n'obutimba obubika amaaso. 24Awo olulituuka mu kifo ky'akaloosa walibaawo kuwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi baliba na biwalaata. Mu kifo ky'engoye ennungi balyambala nziina, obulungi bwabwe bulifuuka nsonyi.#Es 2:12, Is 22:12 25Abasajja bo balittibwa na kitala, n'abalwanyi bo abazira balifiira mu lutalo. 26Enzigi za Yerusaalemi zirikungubaga, ne zitema emiranga. Ekibuga kyennyini kiriba ng'omukazi akubiddwa ennaku, atuula ku ttaka ng'asobeddwa.#Yer 14:2, Kung 1:4; 2:10
Currently Selected:
Isaaya 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.