Isaaya 35
35
Obwakabaka obujja
1Olukoola n'amatongo birijaguza;
n'eddungu lirisanyuka, lirisansula
ng'ejjirikiti.
2Lirisukkiriza okusansula,
lirisanyuka n'essanyu n'okuyimba;
ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa,
obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
obulungi obungi obwa Katonda waffe.
3Munyweze emikono eminafu,
mukakase n'amaviivi agajugumira.#Yob 4:3,4, Beb 12:12
4Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
“Mubeere n'amaanyi, temutya,”
laba Katonda wammwe
alijja n'okuwalana eggwanga,
n'empeera ya Katonda;
alijja n'abalokola.
5Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka,
n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka.#Is 32:3,4; 48:21, Mat 11:5, Yok 5:8,9; 9:6,7
6Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi,
n'olulimi lwa kasiru luliyimba;
kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola,
n'emigga mu ddungu.
7N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba,
n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi;
mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga,
muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo.
8Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo,
era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu;
abatali balongoofu tebaliriyitamu;
naye liriba lya bali abatambuze,
weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.#Is 40:3; 52:1
9Teribaayo mpologoma,
so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu,
tezirirabikayo;
naye abaanunulibwa be baliritambuliramu;#Leev 26:6
10n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo,
ne bajja e Sayuuni nga bayimba;
n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe;
balifuna essanyu n'okujaguza,
n'okunakuwala n'okusinda biriddukira ddala.#Is 51:11; 65:19
Currently Selected:
Isaaya 35: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.