1
Isaaya 35:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda biriddukira ddala.
Compare
Explore Isaaya 35:10
2
Isaaya 35:3-4
Munyweze emikono eminafu, mukakase n'amaviivi agajugumira. Mugambe abo abalina omutima omuti nti, “Mubeere n'amaanyi, temutya,” laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.
Explore Isaaya 35:3-4
3
Isaaya 35:8
Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.
Explore Isaaya 35:8
4
Isaaya 35:5
Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka, n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka.
Explore Isaaya 35:5
5
Isaaya 35:6
Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba; kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu.
Explore Isaaya 35:6