Isaaya 30
30
Omusango eri Misiri
1Zibasanze abaana abajeemu, bw'ayogera Mukama,
abakola enteekateeka, naye nga si zange;
Ne batta omukago naye nga si mu mwoyo gwange,
balyoke bongere ekibi ku kibi;#Is 1:2; 25:7; 29:15
2abatambula okuserengeta okugenda e Misiri,
nga tebanneebuuzizzaako,
okunoonya obukuumi bwa Falaawo,
n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri!#1 Bassek 22:7, Is 31:1, Yer 37:5
3Obukuumi bwa Falaawo bulifuuka ensonyi zammwe,
n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.#Is 20:5
4Newakubadde abakulu be bali Zowani,
nga n'ababaka be batuuse e Kanesi.
5Bonna baliswala
olw'abantu abatayinza kubagasa,
abatayamba newakubadde okugasa,
okuggyako okubaleetera ensonyi era ekivume.#Yer 2:36
6Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiikaddyo.
Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa,
omuva empologoma enkazi n'ensajja,
embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka,
nga batikka obugagga bwabwe ku ndogoyi ento,
n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira,
nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.
7Kubanga obuyambi bwa Misiri bwa bwereere era tebugasa,
kyenvudde mmuyita
Lakabu atuula obutuuzi.#Is 36:6
8Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe,
okiteeke ne mu kitabo,
kibeere obujulirwa obw'emirembe n'emirembe.#Kaab 2:2
9Kubanga be bantu abajeemu,
abaana ab'obulimba,
abaana abatakkiriza kuwulira
mateeka ga Mukama;
10abagamba abalabi nti, “Temulaba,”
n'abalaguzi nti, “Temutulaguliranga bya mazima,”
mutubuulire ebitusanyusa,
mulagule eby'obulimba,#1 Bassek 22:13, Yer 11:21; 28:1-11, Am 2:12
11muve mu luguudo, mukyame okuva mu kkubo,
Tetwagala kuwulira ku Mutukuvu wa Isiraeri.
12Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti,
“Kubanga munyoomye ekigambo kino
ne mwesiga okujooga n'obubambaavu
ne mwesigama okwo;
13obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli
ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu,
okumenyeka kwakyo kujja mangu ddala.
14Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka,
ng'akimenyamenya awatali kusaasira;
n'okulabika ne watalabika luggyo mu bitundu byakyo
olw'okusena omuliro mu kyoto,
oba olw'okusena amazzi mu kidiba.”#Zab 2:9
15Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti,
“Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera;
mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe,”
mmwe temufaayo#Kuv 14:14, Zab 81:11, Kos 14:1
16Naye ne mugamba nti,
“Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi;”
kyemuliva mudduka,
era nti, “Tulyebagala ku z'embiro;”
abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.#Is 31:1,3, Kos 14:3
17Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu;
olw'okuboggola kw'abataano mulidduka,
okutuusa lwe mulisigala
ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi,
era ng'ebendera eri ku kasozi.#Leev 26:17, Ma 28:25; 32:30
18Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa,
era kyaliva agulumizibwa abasaasire,
kubanga Mukama Katonda alaba ensonga;
balina omukisa bonna abamulindirira.#Zab 2:12, Is 5:16; 8:17, 2 Peet 3:9
19Mmwe abantu abali mu Sayuuni abatuula e Yerusaalemi, temuliddamu kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw'olimukaabirira, bwaliwulira eddoboozi ery'oku kaaba kwo, alikwanukula. 20Era newakubadde nga Mukama ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo.#1 Bassek 22:27 21Bwonakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira ekigambo ekikuvaako emabega nga kyogera nti, “Lino lye kkubo, litambuliremu.”#Ma 5:32 22Era olyonoona bifaananyi byo ebyole ebya bikibwako ffeeza, n'ebyo ebya bikibwako zaabu, olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olibigamba nti, “Muveewo.”#Is 2:20; 31:7, Kos 14:8 23Era alitonnyesa enkuba olw'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era n'emmere eva mu ttaka, eriba ya mugaso ate nga nnyingi. Mu nnaku ezo ente zo ziririira mu malundiro amagazi.#Zab 65:13, Yer 5:24 24Era ente n'endogoyi ezirima ettaka zirirya eby'okulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo. 25Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba emigga egikulukuta emirongooti bwe girigwa. 26Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu, ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky'abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.#Is 1:5,6; 60:19,20, Kos 6:1
27Laba, erinnya lya Mukama liva wala,
nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu;
emimwa gye gijjudde okunyiiga,
n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya;
28n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala,
ogutuuka ne mu bulago,
okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'okuzikiriza,
n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.#Is 8:8; 11:4; 37:29, Nak 1:8
29Muliba n'oluyimba ng'olwo oluyimbibwa ekiro nga bakwata embaga entukuvu; omutima gwo guliba n'essanyu, ng'omuntu bw'agenda ng'afuuwa endere okujja ku lusozi lwa Mukama, Olwazi lwa Isiraeri.#Is 44:8 30Era Mukama aliyamba abantu okuwuliriza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira.#Is 28:2; 29:6 31Olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenyeka, bwalibakuba n'omuggo gwe. 32Buli Mukama lw'anamukubanga n'omuggo gwe, wanaabangawo ng'ebivuga by'ebitaasa n'ennanga, nga mukama alwana nabo mu ntalo.#Is 19:16 33Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n'enku; omukka gwa Mukama, ng'omugga gwa salufa gukyasa.#2 Bassek 23:10, Ez 20:48; 24:9,10
Currently Selected:
Isaaya 30: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.