1
Isaaya 30:21
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Bwonakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira ekigambo ekikuvaako emabega nga kyogera nti, “Lino lye kkubo, litambuliremu.”
Compare
Explore Isaaya 30:21
2
Isaaya 30:18
Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire, kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.
Explore Isaaya 30:18
3
Isaaya 30:15
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe,” mmwe temufaayo
Explore Isaaya 30:15
4
Isaaya 30:20
Era newakubadde nga Mukama ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo.
Explore Isaaya 30:20
5
Isaaya 30:19
Mmwe abantu abali mu Sayuuni abatuula e Yerusaalemi, temuliddamu kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw'olimukaabirira, bwaliwulira eddoboozi ery'oku kaaba kwo, alikwanukula.
Explore Isaaya 30:19
6
Isaaya 30:1
Zibasanze abaana abajeemu, bw'ayogera Mukama, abakola enteekateeka, naye nga si zange; Ne batta omukago naye nga si mu mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ku kibi
Explore Isaaya 30:1