Isaaya 28
28
Bunnabbi bw'omusango n'omukisa
(28:1—35:10)
Omusango eri Efulayimu
1Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu,
n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa,
ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge!
2Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira;
nga kibuyaga alimu omuzira,
embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo,
bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono.#Is 8:7; 30:30, Ez 13:11
3Engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu
eririnnyirirwa n'ebigere;
4n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa,
ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu,
kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka;
oyo alitunuulira bw'aliraba
nga likyali mu mukono gwe aliririra ddala.
5Ku lunaku luli Mukama ow'eggye aliba ngule ya kitiibwa,
era aliba nkuufiira ya buyonjo, eri abantu be abalifikkawo;
6era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango,
era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango.#1 Bassek 3:28
7Naye era nabo bakyamye olw'omwenge,
era ekitamiiza kibawabizza;
kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge,
omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza;
bakyama mu kwolesebwa,
beesittala mu kusala emisango.#Nge 20:1, Kos 4:11
8Kubanga emmeeza zonna zijjudde ebisesemye n'empitambi,
tewali kifo kirongoofu.
9Ani gw'aliyigiriza okumanya?
Era ani gw'alinnyonnyola obubaka bwe?
abo abaleseeyo okuyonka,
abavudde ku mabeere?#Yer 6:10
10Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro;
olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri;
wano katono, awo katono.
11Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi
era n'olulimi olulala:#1 Kol 14:21
12be yagamba nti,
“Kuno kwe kuwummula,
mumuwe okuwummula oyo akooye;
era kuno kwe kuweera,”
naye ne bataganya kuwulira.#Is 30:15
13Ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gyebali
ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro;

wano katono, awo katono;
bagende bagwe bugazi
bamenyeke bateegebwe bakwatibwe.
14Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma,
abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi,
15Kubanga mwogedde nti, “Tulagaanye endagaano n'okufa,
era tutabaganye n'amagombe;
ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu,
tekiritutuukako;
kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe,
era twekwese wansi w'obukuusa.”
16Mukama Katonda kyava ayogera nti,
Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi,
ejjinja eryakemebwa,
ejjinja ery'oku nsonda ery'omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi,
akkiriza talyanguyiriza.#Lub 49:24, Bar 9:33, Bef 2:20, 1 Peet 2:6
17Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera,
n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza;
n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba,
n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu.
18N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka,
so n'okutabagana kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera;
ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu,
ne kiryoka kibalinnyirira wansi.
19Buli lwe kinaayitangamu, kinaabakwatanga;
kubanga buli lukya kinaayitangamu
emisana n'ekiro,
era okutegeera obubaka buno kulireta ntiisa nsa.
20Kubanga ekitanda kimpi omuntu tayinza kukyegololerako;
n'eky'okwebikka kimpi omuntu tayinza kukyebikka.
21Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu,
alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni;
akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo,
era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo.#Yos 10:10-14, 2 Sam 5:20
22Kale nno temuba banyoomi,
enjegere zammwe zireme okunywezebwa;
kubanga n'awulira okuva eri Mukama ow'eggye ng'awa
ekiragiro okuzikiriza ensi yonna.#Is 10:23
23Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange;
mutegereze muwulire ebigambo byange.
24Omulimi alima lutata okusiga?
akabala lutata n'akuba amavuunike ag'ettaka lye?
25Bw'amala okulittaanya lyonna,
tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino,
n'asiga eŋŋaano ennyiriri
ne sayiri mu kifo ekiragiddwa
n'obulo ku lubibiro lwayo?
26Kubanga Katonda we
amutegeeza bulungi, amuyigiriza.
27Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi,
so ne kumino tebaginyooleranyoolerako nnamuziga w'eggaali;
naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo,
ne kumino na luga.
28Eŋŋaano ey'omugaati bagisa busa;
kubanga talimala nnaku zonna ng'agiwuula,
newakubadde ng'agitambulizako nnamuziga w'eggaali lye eriwuula,
n'embalaasi ze ne bwe zigisaasaanya, era tagisa.
29Era n'ekyo kivudde eri Mukama ow'eggye,
ow'ekitalo okuteesa ebigambo,
asinga bonna amagezi.#Is 9:6, Yer 32:19
Currently Selected:
Isaaya 28: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: