YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 27

27
1Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.#Zab 74:13,14, Is 51:9, Ez 29:3
2Ku lunaku luli
Muliyimbira olusuku lwange olulungi olw'emizabbibu.#Is 5:7
3Nze Mukama ndukuuma;
ndufukirira amazzi buli kaseera,
ekintu kyonna kireme okulwonoonanga,
ndukuuma emisana n'ekiro.
4Ekiruyi tekiri mu nze:
singa katazamiti n'amaggwa gannumbye mu lutalo!
nandigatabadde, nandigookedde wamu.#2 Sam 23:6,7, Is 10:17
5Oba akwate ku maanyi gange,
atabagane nange;
weewaawo, atabagane nange.
6Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,
Isiraeri alyanya alimulisa,
era alijjuza ensi yonna ebibala.#Is 37:31, Kos 14:5,6
7Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba?
oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta?#Is 37:18,36-38, Kos 6:1,2
8Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero;
amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi
ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba.#Yer 18:17
9Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo,
era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye;
bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto
ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa,
Baasera baabwe n'ebyoto eby'okwoterezaako obubaane birisigala biyimiridde.#Ma 16:21, 2 Bassek 18:4
10Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifuuse kifulukwa,
matongo agalekeddwawo, ng'eddungu:
awo ennyana w'eririira,
era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu.#Is 17:2,9
11Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa;
abakazi balijja ne bagookya,
kubanga be bantu abatalina magezi;
eyabakola kyaliva alema okubasaasira,
era eyababumba talibalaga kisa.#Ma 32:28
12Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikukuŋŋunta okuva ku mugga Fulaati, okutuuka ku kagga k'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.#Ma 15:18
13Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaalibabulidde mu nsi y'e Bwasuli n'abo abaali bagobeddwa mu nsi y'e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.#Leev 25:9, Is 2:2; 11:11, Mat 24:31, Kub 11:15

Currently Selected:

Isaaya 27: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in