YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 29

29
Omusango eri Yerusaalemi
1Owange, Alyeri, Alyeri,
ekibuga Dawudi kye yasiisirako!
mugatte omwaka ku mwaka;
embaga zituukire mu ntuuko zaazo:#2 Sam 5:9
2ne ndyoka nnakuwaza Alyeri,
era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala,
era aliba gye ndi nga Alyeri.
3Era ndikusiisirako enjuyi zonna,
era ndikuzingiza n'ekigo,
era ndikuzimbako enkomera okwetooloola wonna.#2 Bassek 25:1
4Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka,
n'ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng'oli mu nfuufu;
n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liva mu ttaka,
n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biva mu nfuufu.#Is 8:19
5Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge,
n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka;
weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.#Is 17:13,14
6Alijjirwa Mukama ow'eggye
n'okubwatuka, n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene,
n'akazimu ne kibuyaga, n'olulimi olw'omuliro ogwokya.
7N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri,
gonna agalwana naye n'ekigo kye, n'abamuteganya,
kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro.#Yob 20:8, Zek 12:9
8Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota,
ng'alya naye n'azuukuka, ng'akyalina enjala,
oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, ng'anywa amazzi,
naye n'azuukuka, ng'amunafu ng'alina ennyonta,
bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna
agalwana n'olusozi Sayuuni.
9Mudde awo mwewuunye era mwesiruwaze,
muzibe amaaso gammwe,
Mutamiire, naye si na mwenge;
mutagatte, naye si na kitamiiza.
10Kubanga Mukama afuse ku mmwe
omwoyo ogw'otulo otungi,
era azibye amaaso gammwe, mmwe bannabbi;
n'emitwe gyammwe, mmwe abalaguzi, agibisseeko.#Is 6:10, Bar 11:8
11N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti, “Soma kino, nkwegayiridde,” n'ayogera nti, “Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero.” 12Singa bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti, “ Soma kino, nkwegayiridde” Addamu nti, “Simanyi kusoma.”
13Mukama n'ayogera nti,
Kubanga abantu bano bansemberera n'akamwa kaabwe,
ne banzisamu ekitiibwa n'emimwa gyabwe,
naye emitima gwabwe gindi wala,
n'okuntya kwabwe kiragiro ky'abantu kye bayigirizibwa;#Is 58:2, Yer 12:2, Ez 33:31, Mat 15:8,9, Mak 7:6,7, Bak 2:22
14kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu
ogw'ekitalo mu bantu bano,
omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero;
n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira,
n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.#Yer 49:7, Kaab 1:5, 1 Kol 1:19
15Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kwabwe,
n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza,
ne boogera nti, “ Ani atulaba? Era ani atumanyi?”#Yob 22:13, Is 30:1, Ez 8:12
16Muvuunikira ddala ebintu.
Omubumbi balimwenkanya ebbumba;
ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti,
“Teyankola;”
oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti,
“Talina magezi?”#Is 10:15, Bar 9:20
17Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo
Lebanooni alifuusibwa ennimiro engimu,
n'ennimiro engimu baligiyita kibira?
18Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira
ebigambo by'omu kitabo,
n'amaaso g'omuzibe galiraba
okuva mu butalaba ne mu kizikiza.#Is 35:5, Mat 11:5
19Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama,
n'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri.#Zef 3:12, Mat 5:3
20Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma,
n'abo bonna abagala okukola obutali butuukirivu bazikiridde;#Is 28:22
21Abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
ne batega awa obujulizi mu musango,
ne basingisa omusango omutuukirivu.#Am 5:10,12
22Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo
nti, “Yakobo taliddayo kuswazibwa,
so n'obwenyi bwe tebulisiiwuuka.#Lub 12:1-3
23Naye bw'aliraba abaana be,
omulimu gw'emikono gyange, wakati mu ye,
balitukuza erinnya lyange;
weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo,
era balyewuunya Katonda wa Isiraeri.#Is 8:13; 60:21, Bef 2:10
24Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu,
n'abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.”

Currently Selected:

Isaaya 29: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in