Isaaya 23
23
Obunnabbi eri Ttuulo
1Omugugu gwa Ttuulo.
Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi,
kubanga kifuuse matongo, temukyali nnyumba oba mwalo,
kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.#Ez 26:2—28:24, Yo 3:4-8, Am 1:9,10, Zek 9:2-4
2Musirike, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja,
mmwe abasuubuzi b'e Sidoni;
abawunguka ennyanja kwe mugaggawalidde.
3Era ku mazzi amangi
kwajjirako ensigo za Sikoli,
n'ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge;
era oyo ye yali akatale k'amawanga.#Yer 2:18, Ez 27:3-23
4Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde,
ekigo eky'ennyanja, nti,
“Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala,
so sinnayonsa balenzi,
so sinnalera bawala.”
5Ebigambo bwe birituuka e Misiri,
balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo.
6Muwunguke mugende e Talusiisi;
mukube ebiwoobe, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja.
7Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu
ekimaze emyaka emingi
era ebigere byakyo ebyakitwalanga
okubudama mu bitundu eby'ewala?
8Ani eyateekateeka kino
ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule,
abasuubuzi baamu balangira,
abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?#Is 2:12
9Mukama ow'eggye ye akiteesezza,
okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna,
okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna ab'omu nsi.
10Yita mu nsi yo nga Kiyira,
ggwe muwala wa Talusiisi;
tewakyali lukoba lukusiba.
11Agolodde omukono gwe ku nnyanja,
anyeenyezza obwakabaka,
Mukama alagidde eby'e Kanani,
okuzikiriza ebigo byamu.
12N'ayogera nti,
“Tokyaddayo kusanyuka,
ggwe muwala wa Sidoni ajoogebwa;
golokoka, owunguke ogende e Kittimu;
era n'eyo toliba na kuwummula.”
13Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu. Baazimba eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, ne baasuula amayumba gaamu era n'abazikiriza.
14Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi,
kubanga ekigo kyammwe kizikiriziddwa.#Is 23:1
15Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu (70), ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu (70) nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.#Yer 25:11
16Twala ennanga
otambuletambule mu kibuga,
ggwe omwenzi eyeerabirwa;
kuba bulungi ennanga,
oyimbe ennyimba nnyingi,
olyoke ojjukirwe.
17Awo olulituuka emyaka nsanvu (70) nga giweddeko, Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.#Kub 17:1,2 18N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba bitukuvu eri Mukama, tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebirungi.#Is 36:9
Currently Selected:
Isaaya 23: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.