YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 22

22
Obunnabbi eri Yerusaalemi
1Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa.
Obadde otya kaakano, n'okulinnya n'olinnya,
waggulu ku nnyumba.
2Ggwe ajjudde okuleekaana,
ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu?
ababo abattibwa tebattibwa na kitala,
so tebafiiridde mu ntalo.
3Abakufuga bonna baddukira wamu,
bawambiddwa awatali kulwana,
bonna abaasangibwa bakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
newakubadde nga baali baddukira wala.
4Kyennava njogera nti,
“Munveeko, mundeke
nkabire ddala nnyo;
temutegana kunsanyusa
olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.”#Yer 9:1
5Kubanga Mukama ow'eggye alina olunaku
olw'akatabanguko, olw'okulinnyiririrwako, era olw'okubuusizabuusizaako,
mu kiwonvu eky'okwolesebwa;
okumenyamenya bbugwe,
n'okukaaba eri ensozi.#Is 2:12
6Eramu ayambalidde omufuko gw'obusaale,
wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi;
ne Kiira asabuukulula engabo.
7Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali,
n'abeebagala embalaasi, ne batassibwa ku miryango.
8N'aggyawo ekibikka ku Yuda;
n'otunuulira ku lunaku luli eby'okulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.#1 Bassek 7:2; 10:17 9Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi, ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi.#2 Byom 32:5, Nek 3:16 10Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenya amayumba okunyweza bbugwe. 11Mwasima ekidiba omuterekebwa amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi, naye ne mutatunuulira oyo eyakisima oba okumussaamu oyo ekitiibwa eyakiteekateeka edda ennyo.#2 Bassek 20:20; 25:4, 2 Byom 32:3,4, Is 5:12
12Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye,
n'ayita abantu okukaaba n'okukungubaga,
n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu;
13era, laba, ssanyu na kujaguza,
kutta nte na kutta ndiga,
kulya nnyama na kunywa mwenge.
“tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.”#Is 56:12, 1 Kol 15:32
14Mukama ow'eggye yeeyakimbikkulira n'enkiwulira
nti, “ Mazima obutali butuukirivu buno tebulisonyiyibwa
okutuusa lwe mulifa,”
bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.#1 Sam 3:14
15Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, nti, “Genda eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, omugambe nti,#2 Bassek 18:18,26,37; 19:2, Is 36:3 16Okola ki wano? Era ani gw'olina wano n'okutuuka n'otuuka okwetemera wano entaana, ng'otema entaana waggulu, nga ogyetemera mu lwazi?#Mat 27:60 17Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi gwe omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikunywereza ddala. 18Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.#Is 36:9 19Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo. 20Awo olulituuka ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya,#2 Bassek 18:18 21era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimukwasa obuyinza bwo, era aliba kitaabwe w'abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda. 22Ndimukwasa era n'aba n'obuyinza ku kisumuluzo ky'ennyumba ya Dawudi, era bw'aliggulawo tewaliba aggalawo, era bw'aliggalawo tewaliba aggulawo.#Kub 3:7 23Era ndimukomerera ng'enninga okumunyweza mu kifo kye, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.#Ezer 9:8, Mub 12:11 24Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye okuva ku bukompe okutuuka ku matogero. 25Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo okumunyweza mu kifo kye erisimbuka, n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako, ekyo Mukama akyogedde.”

Currently Selected:

Isaaya 22: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in