Isaaya 20
20
1Mu mwaka Talutani omuduumizi ow'okuntiko mwe yajjira e Asudodi, ng'asindikiddwa Salugoni kabaka w'e Bwasuli, n'alwana ne Asudodi n'akimenya.#2 Bassek 18:17 2Mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti, “Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era oggyemu engatto yo mu bigere byo.” N'akola bw'atyo n'atambula nga talina na ngatto.#1 Sam 19:24, Mi 1:8 3Mukama n'ayogera nti, “ Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambula emyaka esatu nga talina ngatto mu bigere bye, okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;#Is 8:18 4bw'atyo kabaka w'e Bwasuli alitwala Abamisiri nga basibe, wamu n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi.#2 Sam 10:4, Is 19:4, Mi 1:11 5Era balikeŋŋentererwa balikwatibwa ensonyi, olwa Kuusi essuubi lyabwe, n'olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.#2 Bassek 18:21, Is 30:3,5 6Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw'ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekituuse ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w'e Bwasuli! kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya? ’ ”
Currently Selected:
Isaaya 20: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.