Mukama n'ayogera nti, “ Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambula emyaka esatu nga talina ngatto mu bigere bye, okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; bw'atyo kabaka w'e Bwasuli alitwala Abamisiri nga basibe, wamu n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi.