Bible App logo
Search Icon

Koseya 9

9
Koseya alanga okubonerezebwa kwa Isiraeri
1Tosanyuka, ayi Isiraeri! Temusanyuka ng'abantu abalala; kubanga oyenze n'okuva ku Katonda wo, oyagadde empeera y'omwenzi ku buli gguuliro.#Yer 44:17, Kos 1:2; 2:5 2Egguuliro n'essogolero tebiribalisa, era n'omwenge omusu gulimuggwaako. 3Tebalisigala mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era banaalyanga emmere eteri nnongoofu.#Leev 25:23, Ez 4:13, Kos 8:13 4Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama; era tebalimusanyusa ne ssaddaaka zaabwe. Emigaati gyabwe giriba nga emigaati gy'abakungubazi, bonna abanaagiryangako banaabanga abatali balongoofu; kubanga emigaati gyabwe ginaabanga gya kuwonya njala yaabwe kyokka; tegitwalibwenga mu nnyumba ya Mukama.#Ma 26:14, Ez 24:17, Kag 2:13 5Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama? 6Kubanga, laba, bagenda mu Bwasuli; Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika. Omwennyango gulyemala ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'amaggwa galibeera mu n'eweema zaabwe.#Is 2:20, Kos 10:8 7Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya. Nnabbi musirusiru, omusajja aliko omwoyo alaluse, olw'obutali butuukirivu bwammwe obungi, era n'obukyayi obungi.#Is 10:3, Ez 13:3 8Nnabbi ye mukuumi wa Efulayimu, abantu ba Katonda wange, songa ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda.#Kos 5:1 9Beeyonoonye nnyo nnyini, nga mu nnaku ez'e Gibeya, Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe.#Is 31:6, Kos 7:2; 8:13
Ekibi kya Isiraeri n'ebibala byakyo
10Nga emizabbibu mu ddungu, bwe n'asanga Isiraeri, ng'ebibala ebisooka okwengera ku mutiini, mu mwaka gwagwo ogwolubereberye, bwe nnalaba bajjajjammwe. Naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira Baali, ne bafuuka eky'omuzizo ng'ekyo kye baayagala.#Kubal 25:3, Zab 80:8, Bar 1:28 11Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ng'ekinnyonyi; tewaliba kuzaala, newakubadde okubeera olubuto, wadde okufuna olubuto. 12Newakubadde nga baliba balera abaana baabwe, era naye ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu n'omu, weewaawo, ziribasanga bwe ndibavaako!#1 Sam 28:15,16, Kos 13:16 13Abaana ba Efulayimu, nga bwendaba, baategekeddwa okuliibwa; Efulayimu ateekeddwa okukulembera abaana be bagende battibwe.#1 Sam 28:15,16, Ez 27:3 14Bawe ayi Mukama, olibawa ki? Bawe olubuto oluvaamu n'amabeere agataliimu mata.#Luk 23:29
Mukama asalira Isiraeri omusango
15Buli bubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; eyo gye natandikira okubakyawa. Olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange, siribaagala nate, abakungu baabwe bonna bajeemu. 16Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala, weewaawo, newakubadde nga bazaala, era naye nditta abaana baabwe abaagalwa. 17Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira, era baliba mmomboze mu mawanga.#Ma 28:64,65

Currently Selected:

Koseya 9: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in