Bible App logo
Search Icon

Koseya 10

10
Nnabbi ayogera ku Isiraeri
1Isiraeri muzabbibu ogubala ennyo, ng'ebibala bye bwe byeyongeranga obungi, bw'atyo naye gyeyakoma okuzimba ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, n'empagi ze gyezeyongera okuba ennungi.#Ma 16:22, Zab 80:8-11 2Omutima gwabwe mulimba, kaakano balina okwettika omusango gwe. Katonda ajja kumenyawo ebyoto byabwe, era azikirize n'empagi zaabwe. 3Mazima kaakano banaayogera nti, “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki?”#1 Sam 12:12 4Boogera bigambo bugambo, nga balayira eby'obulimba baalagaana endagaano; ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro. 5Abali mu Samaliya bakankana olw'ennyana ey'e Besaveni. Abantu baakyo baligikungubagira, ne bakabona baakyo abasinza ebifaananyi baligiwuubaalira, olw'ekitiibwa kyayo ekigivuddeko.#1 Sam 4:21,22, 1 Bassek 12:28 6Yee, ekintu ekyo kiritwalibwa e Bwasuli, ng'ekirabo kya kabaka omukulu. Efulayimu aliswazibwa, ne Isiraeri alikwatibwa ensonyi olw'ekifaananyi kye.#Kos 5:13 7Kabaka w'e Samaliya alizikirira, ng'ekibajjo ky'omuti kungulu ku mazzi. 8Ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birisanyizibwawo; amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe, era baligamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n'obusozi nti, “Mutugweko.”#1 Bassek 12:30, Am 8:14, Luk 23:30, Kub 6:16
Mukama asalira Isiraeri omusango
9Okuva mu nnaku za Gibeya, wayonoona, ayi Isiraeri, eyo gye beyongerera. Olutalo terulibakwatira e Gibeya?#Kos 9:9 10Ndirumba abantu bano aboonoonyi ne mbakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, era balibonerezebwa olw'okusobya kwabwe okunene. 11Efulayimu nte nduusi eyigirizibbwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano; era nditaliza ensingo ye ennungi, naye nditeeka Efulayimu ku kikoligo, Yuda alikabala ne Yakobo alikuba amavuunike.#Ma 25:4 12Mwesigire obutuukirivu, mukungule okwagala okwannamaddala; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesezaako obutuukirivu.#Is 45:8, Yer 4:3 13Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba kubanga weesiganga amagaali go, n'abasajja bo abalwanyi ab'amaanyi.#Kos 8:7 14N'olwekyo oluyoogaano olw'olutalo lulisituka mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birizikirizibwa nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo, era nnyaabwe lwe yatandaggirwa wamu n'abaana be.#2 Bassek 17:3, Kos 13:16 15Bw'ekityo bwe kirikukolebwa, ayi ennyumba ya Isiraeri, olw'okwonoonakwo okunene. Mu mayengo kabaka wa Isiraeri alisalirwako ddala.

Currently Selected:

Koseya 10: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in