Bible App logo
Search Icon

Koseya 8

8
Mukama wa kubonereza Isiraeri
1Teeka ekkondeere ku mumwa gwo, kubanga ensega eri waggulu ku nnyumba ya Mukama, kubanga bamenye endagaano yange, era bajeemedde amateeka gange.#Ma 28:49 2Balinkaabira nga bagamba nti, Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi.#Mat 7:21 3Isiraeri asudde ekirungi; omulabe alibayigganya. 4Baatekawo bakabaka naye nga tebayise mu nze; baalonda abakungu nga sitegedde. Mu ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe beekoledde ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira.#2 Byom 13:5 5Ŋŋaanyi ennyana yo, ayi Samaliya; obusungu bwange bubabuubuukirako, kinaatwala bbanga ki bonna okuba abalongoofu,#1 Bassek 12:28, Kos 10:5,6 6mu Isiraeri? Omukozi ye yakikola; so si Katonda. Ennyana ye Samaliya erimenyebwamenyebwa.#Mi 1:6,7 7Kubanga basiga mbuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu. Eŋŋaano eyimiridde terina birimba, kale teyinza kubala mmere; singa yali yakubala, bannamawanga bandigiridde.#Kos 7:9; 10:13, Bag 6:8 8Isiraeri amiriddwa ddala, kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko kye kigasa.#2 Bassek 17:6 9Kubanga bambuse eri Obwasuli, ng'entulege etambulatambula yokka; Efulayimu aguliridde baganzi be.#Yer 2:24, Kos 5:13 10Weewaawo, newakubadde nga bagulirira ababayambako mu mawanga, mangu nnyo nja kubakuŋŋaanya; era balisirikiriramu ekiseera okufuka amafuta ku ba kabaka n'abalangira.#Ez 26:7 11Kubanga Efulayimu ayongedde okuzimba ebyoto ebireeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eby'okumuleetera okwonoona. 12Newakubadde nga mmuwandiikira amateeka gange enkumi ne nkumi, bandigatutte nga amagwira.#Ma 4:6,8 13Baagala ssaddaaka; bassaddaka ennyama era ne bagirya; naye Mukama tabasanyukira, kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe era n'ababonereza olw'ebibi byabwe; baliddayo mu Misiri.#Ma 28:68, Yer 7:21, Kos 9:9, Am 8:7 14Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, era azimbye embiri; Yuda azimbye ebibuga bingi ebiriko enkomera, naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.#Is 17:7, Am 2:5; 5:11

Currently Selected:

Koseya 8: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in