Bible App logo
Search Icon

Koseya 2

2
1Mugambe baganda bammwe nti, “Ami,”#2:1 Ami kitegeeza nti Bantu bange. era mugambe bannyinammwe nti, “Lukama.”#2:1 Lukama kitegeeza nti Asaasiddwa.#Is 50:1
Omukazi atali mwesigwa
2“Mwegayirire nnyammwe, mwegayirire, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba, nti aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge; 3nneme okumwambula, ne muleka bwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta;#Ez 19:13 4weewaawo, n'abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi. 5Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi; eyabazaala yawemuka, bwe yayogera nti,‘Ndigenda ne baganzi bange abampa emmere, n'amazzi, ebyoya by'endiga n'obugoogwa, amafuta n'eby'okunywa.’#Yer 44:17 6Kale, laba, ndiziba ekkubo lye n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba w'ayita.#Yob 3:23; 19:8 7Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti, ‘Nja kuddayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo n'abeeranga bulungi okusinga kaakano.’#Is 54:5,6, Luk 15:17,18 8Kubanga teyamanya nga nze n'amuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali.#Is 1:3, Ez 16:19 9Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne mmuggyako ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze.#Yo 1:10 10Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange.#Kung 1:8 11Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne Ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe okutukuvu kwonna.#Is 1:13,14, Am 8:10 12Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti, Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde, era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya.#Is 5:5, Mi 1:7 13Era ndimubonereza olw'ennaku z'embaga za Baali, ze yayotererezangamu obubaane; ne yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be,” bw'ayogera Mukama.#Ez 23:40
Mukama ayagala abantu be
14“Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. 15Era nga tuli eyo, ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu, era ndifuula ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu nga mu nnaku ez'omubuto bwe, era nga mu nnaku ze yaviiramu e Misiri.#Yer 2:2, Kos 11:1 16Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, olimpita Isi#2:16 Isi kitegeeza mu Lwebbulaniya bba.; so tokyampita Baali. 17Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa mannya gaabwe nakatono.#Kuv 23:13, Zef 1:4 18Awo ku lunaku olwo ndiragaana endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu ebyewalula ku ttaka, biremenga kukola kabi bantu bange. Era ndiggyawo omutego, n'ekitala n'entalo okuva mu nsi, era ndibaleka ne mugalamira mirembe.#Leev 26:5, Yob 5:23, Is 2:4, Ez 34:25; 39:9,10 19Era ndikwogereza obe wange ennaku zonna; weewaawo, ndikweyogerereza mu butuukirivu ne mu mazima, ne mu ku kusaasira.#Yer 3:14,15, 2 Kol 11:2 20Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.#Yer 31:34, Yok 17:3 21“Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, ndiddamu eggulu era nalyo liriddamu ensi;#Zek 8:12 22era ensi eriddamu eŋŋaano, omwenge, n'amafuta; era nabyo biriddamu Yezuleeri. 23Era ndimwesigira mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti, ‘Mmwe muli bantu bange,’ nabo balyogera nti,‘ Ggwe oli Katonda wange.’ ”#Yer 31:33, Ez 36:9, Kos 1:6,9, Zek 13:9, Bar 9:25,26, 1 Peet 2:10

Currently Selected:

Koseya 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in