Koseya 1
1
Ebikwata ku Koseya n'amaka ge
(1:1—3:5)
Emirembe Koseya mweyaweerereza
1Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri.#2 Bassek 14:23; 15:1, Is 1:1, Am 1:1, Mi 1:1
Abaana ba Koseya ne mukazi we
2Mukama bwe yatandika okwogera ng'ayita mu Koseya, Mukama yagamba Koseya nti, “Genda owase omukazi ow'obwenzi, ozaale n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obususse, ng'eva ku Mukama.”#Yer 3:1, Kos 2:5; 3:1 3Awo Koseya n'agenda n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri muwala wa Dibulayimu; Gomeri n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi. 4Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mbonereze ab'ennyumba ya Yeeku, olw'omusaayi gw'abantu, Yeeku be yattira e Yezuleeri. Era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.#2 Bassek 10:11; 15:8-12, Am 7:9 5Awo olulituuka ku lunaku olwo ndimenya omutego gwa Isiraeri mu kiwonvu kya Yezuleeri.”#2 Bassek 15:29 6Awo Gomeri n'aba olubuto olwokubiri n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti, “Mutuume erinnya lye Lolukama; kubanga sikyakwatirwa kisa nnyumba ya Isiraeri, wadde okubasonyiwa n'akatono. 7Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era nze Mukama Katonda waabwe, ndibalokola ne mbawonnya; so siribalokola na mutego, newakubadde ekitala, newakubadde olutalo, newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.” 8Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi. 9Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya Lowami; kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
Abaisiraeri balizzibwawo
10Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo, Katonda mwe yabaagambira nti, “Mmwe temuli bantu bange,” awo walibagambira nti, “Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.” 11Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omukulembeze omu, era balitambula okuva mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.#Yer 3:18, Ez 34:23; 37:16-24, Kos 3:5, Zek 10:6
Currently Selected:
Koseya 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.