YouVersion Logo
Search Icon

Kaabakuuku 1

1
Ennyanjula (1:1)
1Omugugu nnabbi Kaabakuuku gwe yalaba.#Nak 1:1
Ebisooka (1:2-11)
Okwemulugunya kwa Kaabakuuku
2Ayi Mukama, ndituusa wa okukaaba naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira nti, “obukambwe!” Naye ggwe tokkiriza kutulokola.#Zab 89:46 3Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, era n'okutunulira emitawaana? Okuzikiriza n'obukambwe biri mu maaso gange; era waliwo empaka, n'okuyomba.#Yer 9:2-6, Mi 7:3 4Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba mazima n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu; kwe kulaba nga n'amazima ganyooleddwa.
Mukama Ayanukula
5Mutunule mu mawanga, mulabe; mwewuunye era mutye, kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.#Is 28:21; 29:14, Bik 13:41 6Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri ne batambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, nga banyaga ebintu by'abalala n'okutwala ennyumba ezitali zaabwe.#Yer 5:15 7Ba ntiisa, bazibu, amazima gaabwe n'ekitiibwa biva mu bo bennyini. 8Embalaasi zaabwe zisinga engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro, n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi beeyagala, weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguyira eky'okulya.#Ma 28:49 9Bonna bajja lwa bukambwe; entiisa yaabwe ebakulemberamu; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.#Yos 11:4 10Weewaawo, basekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gyebali; baasekerera buli kigo, kubanga batuuma enfuufu ne bakimenya.#Ez 4:2 11Awo bayita nga bawulukuka ng'embuyaga era ne bagenda, abasajja abasingiddwa omusango, amaanyi gaabwe ye katonda waabwe.
Ebiddako
(1:12—2:20)
Okwemulugunya kwa Kaabakuuku
12Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ayi Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama, wamuteekerawo musango, naawe ayi Olwazi wamunywereza kubuulirira.#Ma 32:4; 33:27, Zab 90:2; 93:2, Is 10:5-7, Mal 3:6 13Ggwe alina amaaso amalongoofu ennyo agatayinza kutunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi ng'amira omuntu amusinga obutuukirivu?#Zab 5:5; 35:22, Yer 12:1 14Kubanga abantu obafuula ng'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga. 15Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye; kyava asanyuka n'ajaguza.#Yer 16:16 16Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye ngagga. 17Kale alibeera buli kiseera nga afukumula omuya gwe, era awatali kusaasira n'atta amawanga emirembe gyonna?

Currently Selected:

Kaabakuuku 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Kaabakuuku 1