Okuva 9
9
Nsotoka
1Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange bampeereze.’#Kuv 8:1 2Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda, 3laba, omukono gwa Mukama gulireeta nsotoka omuzibu ennyo ku magana go agali ku ttale: ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga.#Kuv 7:4, 1 Sam 6:3,5, Bik 13:11 4Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri ku g'Abamisiri; so ku g'Abaisiraeri tekulifa n'emu.”#Kuv 8:22 5Mukama n'assaawo ekiseera ng'ayogera nti, “Enkya lwenaakola ekyo mu nsi.” 6Mukama n'akola ekyo bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa; naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tekwafa n'emu.#Kuv 9:19 7Falaawo n'atuma okubuuza ekibaddewo ku magana g'Abaisiraeri, ne bamutegeeza nti tekuli n'emu efudde.#Kuv 7:14
Amayute
8Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “ Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimanse waggulu nga Falaawo alaba. 9Lirifuumuuka ng'enfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, ne lireeta amayute ku bantu ne ku nsolo mu nsi yonna ey'e Misiri; era amayute ago galyabika ne gafuuka amabwa.”#Ma 28:27, 2 Bassek 20:7, Yob 2:7, Kub 16:2 10Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agayaabika, ne gafuuka amabwa. 11Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa kubanga nabo baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna.#Kuv 7:11, 2 Tim 3:9 12Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.#Kuv 4:21
Omuzira
13Mukama n'agamba Musa nti, “Ogolokoka enkya ku makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange, bagende bampeereze.’#Kuv 8:20 14Kubanga ku mulundi guno nja ku kubonereza nnyo ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo; olyoke omanye nga mu nsi yonna tewali afaanana nga nze.#Kuv 8:10, 2 Sam 7:22, Zab 71:19; 86:8, Yer 10:6,7 15Kubanga kaakano nandikuleseeko kawumpuli ggwe, n'abantu bo ne muzikiririra ddala; 16naye kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke ligulumizibwe mu nsi zonna.#Nek 9:10, Nge 16:4, Bar 9:17 17N'okutuusa kaakano okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda? 18Laba, enkya nga mu kiseera kino n'atonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebaawo okutuusa kaakano. 19Kale kaakano lagira abaddu bo baggye mangu amagana go ku ttale; kubanga buli muntu, n'ensolo ebinaasigala ku ttale, ne bitayingizibwa mu nnyumba, omuzira gujja kubikuba gubitte.” 20Naye mu baddu ba Falaawo, buli eyatya ekigambo kya Mukama yaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba. 21Naye ataakitya yaleka abaddu be n'amagana ge ku ttale.
22Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ku nsuku ne ku bimera byonna eby'omu nnimiro.”#Kuv 10:12; 14:21 23Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu; Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi yonna ey'e Misiri.#Yos 10:11, Zab 18:13; 78:47, Is 30:30, Ez 38:22, Kub 8:7 24Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga. 25Omuzira ne gugwa ku nsi yonna ey'e Misiri ne gukuba buli ekyali ku ttale: omuntu, ensolo; omuddo, ne gumenya n'emiti.#Zab 105:33 26Mu nsi ey'e Goseni yokka, abaana ba Isiraeri mwe baali, mwe mutaali muzira.#Kuv 8:22 27Falaawo n'atumya, Musa ne Alooni, n'abagamba nti, “Nnyonoonye omulundi guno; Mukama ye mutuukirivu, nze n'abantu bange tuli babi.#Kuv 10:16, 2 Byom 12:6, Zab 129:4, Dan 9:14 28Kale musabe Mukama akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira; kubanga ebyo bimmaze; nange nnaabaleka mugende mangu.”#Kuv 8:8 29Musa n'addamu nti, “Bwe nnaava mu kibuga, naayanjululiza Mukama ebibatu byange, okubwatuka ne kuggwaawo n'omuzira ne gulekeraawo; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.#1 Bassek 8:22,38, Zab 24:1; 143:6, Is 1:15 30Naye mmanyi nga ggwe n'abaddu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.”#Is 26:10 31(Obugoogwa ne sayiri byakubibwa omuzira, kubanga sayiri yali atandiikiriza okubala nga n'obugoogwa busansudde. 32Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa; kubanga byali nga tebinnamera). 33Musa bwe yava mu kibuga awali Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye; okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, n'enkuba n'eteyongera kutonnya ku nsi. 34Falaawo bwe yalaba ng'enkuba, n'omuzira, n'okubwatuka biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.#Kuv 8:15 35Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'ataleka baana ba Isiraeri kugenda, nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.#Kuv 7:13
Currently Selected:
Okuva 9: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: