Okuva 10
10
Enzige
1Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe;#Kuv 4:21 2olyoke otegeeze abaana bo n'abazzukulu bo obubonero bwange bwe nkoze mu Misiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”#Kuv 7:17, Ma 4:9, Zab 44:1; 78:4,6, Yok 1:3 3Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.#1 Bassek 21:29, 2 Byom 7:14; 34:27 4Naye, bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, laba, enkya n'aleeta enzige mu nsi yo;#Nge 30:27, Kub 9:3 5ziribikka ensi ereme okulabika, zirirya byonna omuzira bye gwataliza n'emiti gyonna egy'omu nnimiro;#Kuv 9:2 6era enzige zirijjula ennyumba zo, n'ezabaddu bo, n'ez'Abamisiri zonna; ziriba nnyingi nnyo, era nga bakitammwe ne bajjajjammwe tebazirabangako kasookedde ensi ebaawo.’ ” Musa n'akyuka, n'ava awali Falaawo.#Yo 2:9 7Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu, bagende baweereze Mukama Katonda waabwe; tonnamanya nga Misiri yonna efaafaaganye?” 8Musa ne Alooni ne bakomezebwawo eri Falaawo; n'abagamba nti, “Kale mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe; naye b'ani abanaagenda nammwe?” 9Musa n'addamu nti, “Tunaagenda n'abaana baffe abato, ne bakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi, n'ab'obuwala, n'endiga n'ente zaffe; kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”#Kuv 5:1, Kuv 10:12 10Falaawo n'addamu nti, “ Ndayira Mukama, sijja kubaleka kugenda, mmwe n'abaana bammwe abawere; kirabika mulina olukwe lwe mutegeka. 11Nedda, mmwe abasajja abakulu mmwe muba mugenda muweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
12Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri enzige zigwe ku nsi yonna ey'e Misiri; zirye omuddo gwonna ne byonna omuzira bye gwalekawo.”#Kuv 9:22; 10:5 13Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku olwo, ezaakunta emisana n'ekiro; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba zaali zireese enzige. 14Enzige ne zigwa ku nsi yonna ey'e Misiri, zaali nnyingi nnyo, ezitalabwangako okuva edda n'edda lyonna, wadde oluvannyuma lwazo.#Zab 78:46; 105:34, Yos 2:2 15Zaabikka ku nsi yonna ey'e Misiri, n'ekwata ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwalekawo; ne watasigala kikoola kyonna ku muti, newakubadde omuddo ogw'omu nnimiro mu nsi yonna ey'e Misiri.#Zab 105:35 16Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti, “Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, era nammwe.#Kuv 9:27 17Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko ekibonyoobonyo kino ekinene.”#Kuv 8:8, 1 Bassek 13:6 18Musa n'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama.#Kuv 8:30 19Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu, newatasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri.#Yo 2:20 20Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza baana ba Isiraeri kugenda.#Kuv 4:21
Ekizikiza
21Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekikutte bezzigizigi.”#Kuv 10:12 22Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba ku nsi yonna ey'e Misiri okumala ennaku ssatu.#Zab 105:28 23Abamisiri nga tebasobola kulabagana, era tewali yasobola okuva mu kifo mwe yali okumala ennaku ssatu, naye abaana ba Isiraeri bonna baalina ekitangaala yonna gye baali.#Kuv 8:22 24Falaawo n'ayita Musa n'amugamba nti, “Mugende muweereze Mukama; endiga n'ente zammwe zisigale, naye abaana abawere mugende nabo.”#Kuv 10:8,10 25Musa n'amuddamu nti, “Bwe kiba bwe kityo oba olina okutuwa ensolo n'ebiweebwayo ebyokebwa, bye tunaawaayo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe. 26Naye tuteekwa okugenda n'amagana gaffe; waleme kusigalawo nsolo n'emu, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Naye tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa nga tumaze okutuukayo.” 27Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza kubaleka kugenda.#Kuv 10:20 28Falaawo n'amugamba nti, “Vva we ndi, weekuume, oleme kuddayo kulabika mu maaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange ogenda kufa.” 29Musa n'amuddamu nti, “Oyogedde bulungi; sijja kuddayo kulabika mu maaso go.”#Beb 11:27
Currently Selected:
Okuva 10: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: