YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 8

8
Ebikere
1Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo, omugambe nti, Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, Leka abantu bange, bampeereze. 2Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndibonereza ensi yo, ne ngijjuzaamu ebikere.#Kuv 7:14; 9:2 3Omugga gulijjula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo; eby'okugoyeramu.#Zab 105:30 4Ebikere birikulinnyako ggwe, ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.” 5Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku myala, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.’ ”#Kuv 7:19 6Alooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bibikka ensi yonna ey'e Misiri.#Zab 78:45 7N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri.#Kuv 7:11
8Falaawo n'alyoka ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Musabe Mukama anzigyeko ebikere nze n'abantu bange; nange nnaabaleka abantu, baweeyo ssaddaaka eri Mukama.”#Kuv 8:25-28; 9:28; 10:17,18, Kubal 21:7, 1 Bassek 13:6, Bik 8:24 9Musa n'agamba Falaawo nti, “Ntegeeza ekiseera nze mwe mba nkusabira ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ebikere bizikirizibwe bikuveeko, bive ne mu nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka.” 10N'ayogera nti, “Enkya.” Musa n'amuddamu nti, “Kibe nga bw'ogambye; olyoke otegeere nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.#Kuv 9:14, Ma 33:26, 2 Sam 7:22, Zab 86:8, Is 46:9, Yer 10:6,7 11N'ebikere binaakuvaako ggwe, n'ennyumba zo, n'abaddu bo, n'abantu bo; ne bisigala mu mugga mwokka.” 12Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo; Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere bye yaleetera Falaawo. 13Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku. 14Ne bakunganya entuumo n'entuumo z'ebikere; ensi yonna n'ewunya. 15Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebikere biweddewo, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.#Kuv 8:32; 9:34, 1 Sam 6:6, Mub 8:11
Ensekere
16Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, efuuke ensekere zibune nsi yonna ey'e Misiri.’ ”#Kuv 7:19 17Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo gwe n'akuba enfuufu y'ensi ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Enfuufu yonna mu nsi ey'e Misiri n'efuuka ensekere.#Zab 105:31 18N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza. Ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.#Kuv 7:11 19Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti, “Eno ye ngalo ya Katonda.” Naye Falaawo n'akakanyaza omutima gwe, n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.#Kuv 7:13; 31:18, Zab 8:3, Luk 11:20
Ensowera
20Mukama n'agamba Musa nti, “Golokoka enkya mu matulutulu ogende osisinkane Falaawo bw'anaaba ng'afuluma okugenda ku mugga, omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Leka abantu bange, bampeereze.’#Kuv 8:1; 9:13 21Naye bw'otoobaleke, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ne mu nnyumba zo; ennyumba n'ebibanja by'Abamisiri birijjula ensowera. 22Nange ku lunaku olwo nditaliza ensi ey'e Goseni, abantu bange gye babeera, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke otegeere nga nze Mukama ali wakati mu nsi.#Kuv 7:17; 9:4,6,26; 10:23; 11:7 23Nange ndiraga enjawulo wakati mu bantu bange n'ababo; enkya akabonero kano lwe kanaabeererawo” 24Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera bingi ne bijja mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be; ne mu nsi yonna ey'e Misiri; ensi n'efaafaagana olw'ebikuukuulu by'ensowera.#Zab 78:45; 105:31 25Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Kale mugende muweeyo ssaddaaka eri Katonda wammwe nga muli mu nsi eno.” 26Musa n'ayogera nti, “Si kirungi okukola ekyo; kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta?#Lub 43:32; 46:34 27Kale tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.”#Kuv 3:12,18 28Falaawo n'ayogera nti, “Nnaabaleka, mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, wabula kino kyokka; temugenda wala nnyo. Nange munsabire.”#Kuv 8:8 29Musa n'ayogera nti, “Bwe naava mu maaso go, enkya n'asaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwe ku Falaawo, ne ku baddu be, ne ku abantu be; wabula kino kyokka, Falaawo aleme okwongera okulimba nate okugaana abantu okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”#Kuv 8:15 30Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama.#Kuv 9:33; 10:18 31Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; n'aggyirawo Falaawo, abaddu be, n'abantu be ebikuukuulu by'ensowera; ne watasigala n'emu. 32Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'ataleka bantu kugenda.#Kuv 8:15

Currently Selected:

Okuva 8: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in