YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 7

7
1Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda eri Falaawo; era Alooni muganda wo alibeera nnabbi wo.#Kuv 4:16 2Olyogera buli kye nkulagira; ne Alooni muganda wo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.#Kuv 4:15; 6:29 3Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongera obubonero n'okukola eby'amagero mu nsi y'e Misiri.#Kuv 4:21; 11:9 4Naye Falaawo talibawuliriza, nange ndikozesa amaanyi, ne nzigya abantu bange, abaana ba Isiraeri mu Misiri, nga maze okugibonereza ennyo.#Kuv 6:6 5Kale Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndikozesa obuyinza bwange okubonereza Misiri ne nzigyayo abaana ba Isiraeri.”#Kuv 3:2 6Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yabalagira. 7Musa yali awezezza emyaka kinaana (80), ne Alooni ng'awezezza kinaana mu esatu (83), we baayogerera ne Falaawo.#Bik 7:23,30
Ebibonyoobonyo n'okuva mu Misiri (7:8—15:21)
8Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 9“Falaawo bw'alibagamba nti, ‘Mukoleewo eky'amagero;’ awo n'olyoka ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gufuuke omusota.’ ”#Kuv 4:2,3,17, Yok 2:18; 6:30 10Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne gufuuka omusota. 11Falaawo naye n'alyoka ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri; era nabo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama. 12Ne basuula emiggo gyabwe wansi ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.#Lub 41:8, Kuv 7:22; 8:7, 2 Tim 3:8 13Omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.#Kuv 7:14,22; 8:19; 9:7,35
Omusaayi
14Mukama n'agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo mukakanyavu, kubanga agaanyi okuleka abantu okugenda. 15Kale enkya, genda eri Falaawo omusisinkane ng'agenda ku mugga, omulindirire ku mabbali g'omugga ng'okutte omuggo guli ogwafuuka omusota.#Kuv 4:2,3,17 16Omugambe nti, ‘Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, antumye gy'oli ng'ayogera nti, Leka abantu bange, bagende mu ddungu bampeerereze;’ naye n'okutuusa kaakano ogaanyi okuwulira.”#Kuv 3:18; 5:3 17Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, “Ku kino kw'olimanyira nga nze Mukama: ndikuba amazzi agali mu mugga n'omuggo oguli mu mukono gwange, nago galifuuka omusaayi.#Kuv 4:9; 7:5, Kub 16:4 18Eby'omu nnyanja birifa, n'omugga guliwunya; n'Abamisiri tebaliyinza kunywa ku mazzi gaagwo.”#Kuv 7:21,24, Zab 78:45 19Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogugololere ku mazzi g'e Misiri: ku migga gyabwe, ku myala gyabwe, ku bidiba byabwe ne ku nnyanja zaabwe zonna ez'amazzi, gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri, mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.”#Kuv 8:5,16; 9:23; 10:13,14,16 20Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n'ayimusa omuggo, n'akuba amazzi agaali mu mugga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.#Zab 78:44; 105:29 21Eby'omu mugga ne bifa; omugga ne guwunya, Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi ga mugga Kiyira; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri. 22N'abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag'ekyama; Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.#Kuv 7:11,13 23Falaawo n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, ebyo n'atabissaako mwoyo. 24Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga bafune amazzi ag'okunywa, kubanga amazzi ag'omugga Kiyira nga tebayinza kuganywako.
25Ne wayitawo ennaku musanvu, Mukama ng'amaze okukuba omugga.

Currently Selected:

Okuva 7: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in