YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 6

6
1Mukama n'agamba Musa nti, “Kaakano onoolaba bye n'akola Falaawo; nja kukozesa obuyinza bwange muwalirize abaleke, ajja kubagoba bugobi mu nsi ye.”#Kuv 3:19; 11:1
Katonda asindika Musa e Misiri
2Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti, “NZE YAKUWA. 3N'alabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye ssaabamanyisa linnya lyange erya YAKUWA.#Lub 17:1; 35:11, Kuv 3:14 4Ne nyweza nate endagaano yange nabo, ey'okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng'abagwira.#Lub 15:18; 17:4,7,8; 28:4 5Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange.#Kuv 2:24 6Kale nno tegeeza abaana ba Isiraeri nti, ‘Nze Yakuwa ndibanunula era ndibaggyako okubonyaabonyezebwa n'obuddu bw'Abamisiri, era Abamisiri ndibabonereza n'obuyinza bwange, naye mmwe ne mbanunula.#Kuv 3:17; 7:4; 15:13, Ma 7:8; 26:8, 2 Bassek 17:36, Zab 136:11,12 7Ndibafuula eggwanga lyange, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe abanunudde okuva mu kubonyaabonyezebwa kw'Abamisiri.#Lub 17:7,8, Kuv 29:45,46, Leev 22:33, Ma 7:6; 29:13, 2 Sam 7:24, Kub 21:7 8Ndibayingiza mu nsi eri, gye nneerayirira okuwa, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa mmwe okubeera obutaka. Nze Yakuwa.’ ”#Lub 15:18; 26:3, Kuv 32:13, Ez 20:5,6,42 9Naye Musa ne batamukkiriza kubanga mu mitima gyabwe baali baterebuse olw'okubonyabonyezebwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.#Kuv 5:21
10Mukama n'agamba Musa nti, 11“Genda ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.” 12Musa n'agamba Mukama nti, “ Oba nga abaana ba Isiraeri tebampulidde; Kale Falaawo anaampulira atya nze atali mwogezi mulungi?”#Kuv 4:10 13Mukama n'alagira Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri ne Falaawo kabaka w'e Misiri, nti ndagidde mmwe okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri.”
Olulyo lwa Musa ne Alooni
14Bano be bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe: abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri be bano: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi; mu abo mwe muva ekika kya Lewubeeni.#Lub 46:9, 1 Byom 5:3 15Abaana ba Simyoni be bano: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani; mu abo mwe muva ekika kya Simyoni.#Lub 46:10, 1 Byom 4:24 16Gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).#Lub 46:11, Kubal 3:17, 1 Byom 6:1,16 17Abaana ba Gerusoni be bano: Libuni ne Simeeyi ng'ennyumba yabwe bw'eri.#Kubal 3:18, 1 Byom 6:17 18N'abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu (133).#Kubal 3:19, 1 Byom 6:2,18 19Abaana ba Merali be bano: Makuli ne Musi. Abo bonna be bo mu kika kya Leevi mu mirembe gyabwe.#Kubal 3:20, 1 Byom 6:19 20Amulaamu yawasa Yokebedi ssenga we; n'amuzaalira Alooni ne Musa. Amulaamu n'awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).#Kuv 2:1, 1 Byom 23:13,14 21Bano be baana ba Izukali: Koola, Nefega, ne Zikiri.#Kubal 16:1, 1 Byom 6:37,38 22Bano be baana ba Wuziyeeri: Misaeri, Erizafani, ne Sisiri.#Leev 10:4, Kubal 3:30 23Alooni yawasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.#Leev 10:1, Kubal 3:2, Luus 4:19,20, 1 Byom 6:22,23,37 24Abaana ba Koola be bano: Asira, Erukaana, ne Abiyasaafu; eyo ye nnyumba ya Koola.#1 Byom 6:22,23,37 25Eriyazaali, omwana wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo be bakulu b'ennyumba ab'omu kika kya Leevi.#Kubal 25:7 26Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.”#Kuv 6:13; 7:4; 12:17, Kubal 33:1 27Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu Misiri.
28Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri, 29n'agamba Musa nti, “Nze Mukama; tegeeza Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.”#Kuv 6:2,11 30Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, nze siri mwogezi mulungi, Falaawo anaampulira atya?”#Kuv 6:12

Currently Selected:

Okuva 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in