Okuva 5
5
Musa ne Alooni mu maaso ga Falaawo (5:1—7:7)
1Awo oluvannyuma Musa ne Alooni ne bajja ne bagamba Falaawo nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ”#Kuv 10:9 2Falaawo n'abuuza nti, “Mukama ye ani, nze okuwulira by'agamba okuleka Isiraeri okugenda? Nze Mukama simumanyi, era ne Isiraeri sijja kumuleka kugenda.”#2 Bassek 18:35, Yob 21:15 3Musa ne Alooni ne bagamba nti, “Katonda wa Baebbulaniya ye yatulabikira; tukwegayiridde tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe aleme okututta ne kawumpuli oba n'ekitala.”#Kuv 3:18 4Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lwaki muggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeyo ku mirimu gyammwe.”#Kos 11:1, Bar 9:4, Kuv 1:7,9 5Falaawo n'ayogera nti, “Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubaggya ku mirimu gyabwe.” 6Ku lunaku olwo Falaawo n'alagira abakozesa abantu n'abakulu baabwe, ng'ayogera nti,#Kuv 5:14,15 7“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okukozesa amatoffaali nga bulijjo; bo bennyini bagende balyekuŋŋaanyize. 8N'omuwendo gw'amatoffaali, ge babumba bulijjo, gusigale nga bwe guli, temugukendeezaako n'akatono; kubanga bagayaavu; kyebaava basaba nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9Abantu baweebwe emirimu emikakali bagikole; baleme okuwuliriza ebigambo eby'obulimba.” 10Abakozesa abantu ne bavaayo n'abakulu baabwe, ne bagamba abantu nti, “Falaawo alagidde nti, ‘Temukyaweebwanga ssubi nate. 11Mmwe bennyini mugende mweretere essubi gye munaalisanga yonna, naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba tegujja kusalibwako n'akatono.’ ” 12Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okunoonya essubi 13Abakoza baabwe ne babakubiriza nti, “Mutuukirize omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba ogwa buli lunaku nga bwe mwakolanga nga mukyaweebwa essubi.” 14Abakozesa ba Falaawo ne bakuba abakulu b'abaana ba Isiraeri, nga bababuuza nti, “Lwaki jjo ne leero temwatuukirizza muwendo ogw'amatoffaali nga bulijjo.” 15Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne bajja ne bakaabira Falaawo, ne bagamba nti, “Lwaki otuyisa bw'otyo ffe abaddu bo? 16Tetukyaweebwa ssubi, ate batugamba okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bulijjo, ate tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.” 17Falaawo n'abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu, kye muva mwogera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18Kale kaakati mugende mubumbe amatoffaali, era temujja kuweebwa ssubi; kyokka muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.” 19Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne balaba ng'obuzibu bweyongedde, bwe baabagamba nti, “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.” 20Bwe baava ewa Falaawo ne basisinkana Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21Ne bagamba Musa ne Alooni nti, “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”#Kuv 6:9, Kuv 4:10 22Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?#Kubal 11:11 23Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bo; so naawe tobawonyezza n'akatono!”
Currently Selected:
Okuva 5: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: