Okuva 4
4
Katonda alaga Musa kya nnaakola e Misiri
1Musa n'addamu nti, “Tebalinzikiriza era tebaliwulira bigambo byange; kubanga baligamba nti, ‘Mukama teyakulabikira.’ ” 2Mukama n'amugamba nti, “Kiki ekiri mu mukono gwo?” N'addamu nti, “Muggo.” 3N'amugamba nti, “Gusuule wansi.” N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota; Musa n'agudduka. 4Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo;” n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo nate. 5Olikola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.#Kuv 3:6; 19:9 6Mukama n'amugamba nate nti, “Teeka omukono gwo mu kifuba kyo.” N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga guliko ebigenge ebyeru ng'omuzira#Kubal 12:10, 2 Bassek 5:27 7Mukama n'amugamba nate nti, “Omukono gwo guzze mu kifuba kyo.” N'aguzza mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba ng'ebigenge biweddeko ng'afuuse ng'omubiri gwonna. 8Awo olulituuka bwe batalikukkiriza kukuwulira ku kabonero ak'olubereberye, kale balikukkiriza ku kabonero ak'okubiri. 9Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira by'obagamba, kale olisena ku mazzi g'omugga Kiyira n'ogayiwa ku lukalu; amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.#Kuv 7:19 10Musa n'agamba Mukama nti, “Ayi Mukama siri mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange; kubanga soogera mangu, era n'ebigambo byange si bingi.”#Kuv 6:12, Yer 1:6 11Mukama n'amubuuza nti, “Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba kiggala oba alaba, oba muzibe? Si nze Mukama? 12Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu naawe, ndikusobozesa okwogera era ndikutegeeza by'olyogera.”#Is 50:4, Yer 1:9, Mak 13:11, Luk 21:15 13Musa n'addamu nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” 14Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti, “Alooni muganda wo, Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga ayinza okwogera obulungi. Era, laba, wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka. 15Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesaga mmwembi okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga.#Kuv 4:12; 7:1,2, Kubal 23:5, Ma 18:18, 2 Sam 14:3, Is 51:16 16Alooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe olimubeerera nga Katonda, ng'omutegeeza by'anaayogeranga. 17Twala omuggo guno, gw'olikozesaza eby'amagero.”
Musa addayo e Misiri
18Awo Musa n'addayo eri Yesero kitaawe wa mukazi we. N'amugamba nti, “nkwegayiridde, kanzireyo e Misiri eri baganda bange, ndabe nga bakyali balamu.” Yesero n'agamba Musa nti, “Genda mirembe.” 19Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'agamba nti, “ddayo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta baafa dda.”#Kuv 2:15,23, Mat 2:20, Kuv 3:19 20Musa n'atwala omuggo gwa Katonda, ne mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'e baddayo e Misiri#Kuv 4:2,17; 18:2-4, Kubal 20:8,9 21Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otuukanga e Misiri okolanga eby'amagero byonna bye nkulaze mu maaso ga Falaawo. Nange ndikakanyaza omutima gwe n'attakkiriza bantu kugenda.#Kuv 7:3; 9:12; 10:1,20; 11:10; 14:4, Ma 2:30, Yos 11:20, Is 63:17, Yok 12:40, Bar 9:17,18, Kuv 1:11 22Naawe oligamba Falaawo nti, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Isiraeri ye mwana wange, omubereberye;#Yer 31:9, Kos 11:1, Bar 9:4, Kuv 1:7,9 23nkugambye nti leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka; laba, nange nditta omwana wo omubereberye wo.’ ”#Kuv 11:5; 12:29, Kuv 3:7 24Awo bwe baali bakyali mu lugendo nga bali mu kifo we baasula, Mukama n'asisinkana Musa n'ayagala okumutta.#Lub 17:14, Kubal 22:22 25Awo Zipola, mukazi wa Musa n'addira ejjinja ery'obwogi n'akomola omwana we, ekikuta n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti, “oli baze wa musaayi!”#Yos 5:2,3 26Mukama n'amuleka. Awo Zipola n'ayogera nate nti, “Oli baze wa musaayi olw'okukomola.”
27Mukama n'agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.#Kuv 3:1 28Musa n'abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yamutuma, n'eby'amagero byonna bye yamulagira okukola.#Kuv 4:2-9,15,16 29Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri.#Kuv 3:16 30Alooni n'abategeeza ebigambo byonna Mukama bye yagamba ne Musa, n'akola eby'amagero mu maaso g'abantu. 31Abantu ne bakkiriza; bwe baawulira nti Mukama yalabikira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.#Kuv 3:7,16,18; 12:27, 1 Byom 29:20
Currently Selected:
Okuva 4: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: