YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 23

23
1“Tokkirizanga kigambo kya bulimba; toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba.#Ma 19:16-19 2Togobereranga bangi okukola obubi; so towanga bujulizi bwa bulimba okukyusa omusango;#Kuv 32:1,2, Yob 31:34, Mat 27:24,26, Luk 23:23 3so tosalirizanga omwavu mu nsonga ye.”#Leev 19:15
4“Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ebula, tolemanga kugimuleetera nate.#Ma 22:1,4, 1 Bas 5:15 5Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egudde wansi olw'obuzito bw'omugugu gwe yeetisse, tolemanga kumuyamba.”
6“Tokyusanga musango gwa mwavu mu nsonga ye.#Is 10:1,2 7Weewalanga ekigambo eky'obulimba, so tottanga atalina kabi n'omutuukirivu; sirifuula omubi okubeera omutuukirivu.#Leev 19:11, Nge 17:26, Bef 4:25 8Era toweebwanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso abatunula, ekyusa ebigambo by'abatuukirivu.#Ma 16:19 9Tokolanga bubi munnaggwanga; kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.”#Kuv 22:21
10“Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo.#Leev 25:3 11Naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye; gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.”
12“Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga; ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi.#Kuv 20:9,10 13Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga; so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko.”#Yos 23:7, Kos 2:17
14“Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga.#Kuv 12:15; 13:4, Ma 16:16 15Embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa ogyekuumanga; ennaku musanvu olyanga egitazimbulukusiddwa nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri; so temulabikanga ngalo nsa mu maaso gange n'omu, 16era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro; era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro.#Kuv 34:22 17Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.”
18“Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukusibbwa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya.”#Kuv 34:25
19“Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo, obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.”
“Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina gwayo.”#Kuv 34:26, Ma 26:2,10
20“Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye n'ateekateeka. 21Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye.#Kuv 32:34, Yos 24:19, Zab 78:40,56 22Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.#Lub 12:3 23Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi; nange ndibazikiriza.#Kuv 33:2, Ma 7:1 24Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe; naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe.#Kuv 20:5; 34:13, Leev 18:3 25Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, era ndigiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe.#Ma 6:13; 7:13,15 26Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo; omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.#Ma 7:14, Yob 5:26 27Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna.#Ma 2:25; 7:23 28Era ndisindika ennumba mu maaso go, eziribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go.#Ma 7:20 29Siribagoba mu maaso go mu mwaka gumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera ku ggwe.#Ma 7:22 30Katono, katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi. 31Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati; kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go.#Ma 11:24, Yos 21:44 32Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe.#Kuv 34:12,15, Ma 7:2,16, Zab 106:36 33Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze; kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.”

Currently Selected:

Okuva 23: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in