YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 24

24
Katonda akola Endagaano na baana ba Isiraeri (24:1-18)
1Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi n'abakadde ensanvu (70) aba Isiraeri, munsinze nga mukyali walako, nga temunnatuuka gyendi.#Kuv 6:23, Kubal 11:16 2Ggwe wekka Musa, ggw'oba onsemberera; naye bali baleme okusembera, era n'abantu baleme okwambuka awamu naawe.” 3Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'amateeka gonna; abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti, “Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.”#Kuv 19:8; 21:1 4Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri (12), ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri.#Lub 28:18; 31:45, Ma 31:9 5N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okebwa, n'ente ng'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama. 6Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ekirala eky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.#Beb 9:18 7N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'akisomera abantu; ne boogera nti, “Byonna Mukama by'ayogedde tunaabikolanga era tunaabigonderanga.” 8Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti, “Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.”#Mat 26:28, Mak 14:24, Beb 9:19,20, 1 Peet 1:2 9Musa n'alyoka alinnya olusozi ng'ali ne Alooni, Nadabu, Abiku, n'abakadde ensanvu (70) aba Isiraeri; 10ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.#Lub 32:30, Kuv 3:6; 33:20,23, Is 6:1,5, Ez 1:26; 10:1, Yok 1:18, 1 Tim 6:16, 1 Yok 4:12 11Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Isiraeri abaalaba Katonda; ne balya era ne banywa.
Musa ku Lusozi Sinaayi
12Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi gye ndi, obeereyo; nange ndikuwa ebipande by'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise, obiyigirize abantu.”#Kuv 31:18; 32:15,16, Ma 9:10,11, 2 Kol 3:3 13Musa n'agolokola ne Yoswa omuweereza we; Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda. 14Musa n'agamba abakadde nti, “Mutulindirire wano, okutuusa lwe tunaakomawo. Alooni ne Kuuli, bo basigale nammwe; buli alina ensonga yonna, agende gyebali.” 15Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi.#Kuv 19:9,16, Mat 17:5 16Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga; ku lunaku olw'omusanvu Mukama n'ayita Musa ng'ayima wakati mu kire.#Kuv 16:10, Leev 9:23, Kubal 14:10 17Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.#Kuv 3:2, Ma 4:36, Beb 12:18,29 18Musa n'ayingira wakati mu kire ku lusozi, n'amalayo ennaku ana, emisana n'ekiro.#Kuv 34:28

Currently Selected:

Okuva 24: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in