YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 22

22
1“Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga.#2 Sam 12:6, Luk 9:8 2Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe. 3Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe, kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.#Kuv 21:2, Mat 18:25 4Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.”
5“Omuntu bwalekanga ensolo ye okuliira mu lusuku oba mu nnimiro ey'emizabbibu, ensolo n'egenda erya mu lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.”
6“Omuliro bwe gulandanga ne gwokya emitwalo gye ŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro, ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.”
7“Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba ebintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri. 8Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.#Kuv 21:6, Ma 25:1 9Bwe wabangawo okukaayana olw'ebintu oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti, ‘Kye kino,’ ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oyo Katonda gw'asaliranga omusango, aliwanga emirundi ebiri.”
10“Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba n'erumizibwa, oba n'ebbibwa nga tewali muntu alaba; 11ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nnannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.#Beb 6:1 12Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nnannyiniyo.#Lub 31:39 13Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.”
14“Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga nnannyinikyo taliiwo, talemanga kumuliyira. 15Nnannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga; naye bwe kibanga kyapangisibwa, omuwendo gw'okupangisa gunaamalanga.”
16“Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.#Ma 22:28,29 17Kitaawe bw'anaaganiranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.”
18“Omukazi omulogo tomulekanga nga mulamu.”#Leev 20:27, 1 Sam 28:3
19“Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.”#Leev 20:15,16
20“Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikiririzibwanga ddala.”#Ma 13:1-15; 17:2-5
21“Era munnaggwanga tomuyisanga bubi, so tomulumyanga; kubanga mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.#Leev 19:33,34 22Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga.#Ma 24:17, Is 1:17,23, Zek 7:10 23Bw'onoobabonyabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe;#Yob 34:28, Luk 18:7, Yak 5:4 24era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange nnaabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.”#Zab 109:9, Kung 5:3
25“Bw'owolanga effeeza omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba.#Leev 25:35-37, Ma 23:19,20, Nek 5:7 26Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa;#Ma 24:12,13, Ez 18:7,16, Am 2:8 27kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe; aneebikka ki? Awo, bw'anankaabiranga, nnaawuliranga; kubanga nnina ekisa.”
28“Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.”#Bik 23:5, Yud 8
29“Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.#Kuv 13:2 30Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.”#Leev 22:27, Ma 15:19
31“Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi; kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.”#Kuv 19:6, Leev 22:8, Ez 4:14

Currently Selected:

Okuva 22: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in