Okuva 21
21
1“Gano ge mateeka g'oliteeka mu maaso gaabwe.#Ma 4:14; 6:1 2Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga; awo mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.#Leev 25:39-41, Ma 15:12, Yer 34:14 3Oba nga yajja omu, agendanga omu; oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye. 4Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu. 5Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti, ‘Njagala mukama wange, mukazi wange, n'abaana bange; saagala kuweebwa ddembe kugenda,’#Ma 15:16,17 6awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mwango; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.”
7“Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, ye taweebwanga ddembe ng'abaddu bwe baweebwa.#Nek 5:5 8Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo. 9Oba ng'amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala. 10Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obufumbo tabikendeezangako.#1 Kol 7:5 11Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali kusabayo bintu.”
12“Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa.#Lub 9:6, Leev 24:17, Kubal 35:30, Mat 26:52 13Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.#Kubal 35:11-25, Ma 19:2-10, Yos 20:2 14Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku kyoto kyange okuwona, aggyibwangako n'attibwa.”#1 Bassek 2:28-34
15“Akubanga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa.”
16“Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.”#Ma 24:7
17“Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.”#Leev 20:9, Mat 15:4
18“Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda; 19bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango; naye amugattanga olw'ebiseera bye yamwonoonera, era amujjanjabanga okutuusa lw'aliwona.”
20Era omuntu bw'akubanga omuddu we, oba muzaana we n'omuggo, bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa. 21Naye, bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga; kubanga oli bye bintu bye.#Leev 25:45,46
22“Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto, ne luvaamu, naye ne watabaawo kabi kalala; talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga. 23Naye bwe wabangawo akabi akalala, owangayo obulamu olw'obulamu,#Leev 24:20, Ma 19:21, Mat 5:38 24eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere, 25okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.”
26“Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye. 27Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.”
28“Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango.#Lub 9:5 29Naye ente nga ntomezi, nnannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga omusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nnannyiniyo attibwanga. 30Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.#Kubal 35:31 31Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu. 32Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza asatu (30), era n'ente ekubibwanga amayinja.”
33“Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu, 34nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nnannyiniyo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.”
35“Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga. 36Oba bwe kimanyibwanga ng'ente ntomezi nnannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.”
Currently Selected:
Okuva 21: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: