Bible App logo
Search Icon

Eseza 9

9
Abayudaaya bazikiriza abalabe baabwe
1Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13), ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafugirako; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abo abaabakyawa.#Es 3:13; 8:12 2Awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi; so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.#Es 8:11,17 3Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko. 4Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna; kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga obukulu. 5Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna n'ekitala, ne babazikiriza okubamalawo, ne bakola nga bwe baayagala ku abo abaabakyawa. 6Ne mu kibuga ekikulu Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja bitaano (500). 7Awo Palusandasa, Dalufoni, Asupasa, 8ne Polasa, Adaliya, Alidasa 9ne Palumasuta, Alisayi, Alidayi ne Vaizasa, 10batabani ba Kamani ekkumi, Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; kyokka ne batanyaga kintu kyabwe na kimu.#Es 5:11; 8:11 11Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka. 12Awo kabaka n'agamba Nnaabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse ne bazikirizza abasajja bitaano (500), mu kibuga ekikulu Susani ne batabani ba Kamani ekkumi (10). Kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? Era onookiweebwa, Oba kiki kye weegayirira nate? Era kinaakolebwa.”#Es 5:6; 7:2 13Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani bakkirizibwe enkya okukola ng'ekiragiro ekyaleero bwe kibadde, era ne batabani ba Kamani ekkumi (10), bawanikibwe ku kitindiro.”#Es 8:11 14Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo; kale ne balangirira etteeka mu Susani, ne batabani ba Kamani ekkumi, ne bawanikibwa.#Es 5:11 15Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi Adali, ne batta abasajja bisatu (300) mu Susani; naye ne batakwata ku munyago. 16Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana okutaasa obulamu bwabwe, n'okwewonya eri abalabe baabwe, ne batta ku abo abaabakyawa emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (75,000), naye ne batakwata ku munyago. 17Ebyo byabaawo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu (13) olw'omwezi gwa Adali; enkeera ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya (14) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
Entandikwa y'embaga ya Pulimu (9:18—10:3)
18Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13) n'olw'ekkumi n'ennya (14), ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano (15) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako. 19Abayudaaya ab'omu byalo ne mu bibuga ebitaliiko bbugwe kye baava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako ebirabo.#Nek 8:10,12, Es 8:17, Kub 11:10
20Awo Moluddekaayi n'abiwandiika ebyo, n'aweereza Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala. 21Era n'abalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano (15), buli mwaka, 22nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula ku abalabe baabwe, n'omwezi ogw'abafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala; bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako ebirabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo 23Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baali batandise, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira; 24kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza okuzikiriza Abayudaaya, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza.#Es 3:6,7 25Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa n'alagira nti olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.#Es 7:9,10; 8:3,7, Zab 7:16, Ob 15 26Ennaku ezo kye baava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna ebyali mu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba olw'ensonga eno, n'olw'ebyo ebyababaako, 27Abayudaaya kye baava balagira ne basuubiza era ne basuubiriza n'ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka.#Is 56:3,6 28Era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo mu mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okwerabirwa eri ezzadde lyabwe. 29Awo Nnaabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyokubiri eya Pulimu.#Es 8:10 30N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu abiri mu musanvu (127) ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,#Es 1:1; 8:9 31okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.#Es 4:3 32Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo.

Currently Selected:

Eseza 9: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in