Eseza 10
10
Obukulu bwa Akaswero ne Moluddekaayi
1Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja. 2Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebitegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyo mumirembe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi?#Es 8:15; 9:4 3Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya ye yaddiriranga kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era nga akkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagaliza abantu be obulamu obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.#Lub 41:40
Currently Selected:
Eseza 10: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.