Bible App logo
Search Icon

Eseza 4

4
Eseza ayamba Abayudaaya
1Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene erijjudde ennaku.#2 Bassek 19:1 2N'ajja mu maaso g'omulyango gwa kabaka, kubanga tewali eyayinza okuyingira mu mulyango gwa kabaka ng'ayambadde ebibukutu. 3Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye, buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; era bangi ne baagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu.#Es 4:16; 9:31, Is 58:5, Dan 9:3 4Awo abawala ba Eseza n'abalaawe be ne bajja ne bamubuulira; Nnaabagereka n'anakuwala nnyo, n'aweereza ebyambalo Moluddekaayi by'aba ayambala, n'okumuggyako ebibukutu bye, naye n'atabikkiriza. 5Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ensonga nga bwe yali era ne lwaki kyali bw'ekityo. 6Awo Kasaki n'afuluma n'agenda eri Moluddekaayi awali ekifo ekigazi eky'ekibuga mu maaso g'omulyango gwa kabaka. 7Awo Moluddekaayi n'amubuulira byonna ebyamubaako, n'ebintu bwe byenkanira ddala Kamani bye yasuubiza okusasula mu mawanika ga kabaka olw'okuzikiriza Abayudaaya.#Es 3:9 8Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiiko eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza, alyoke abirage Eseza era abimunnyonnyole; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be kabaka abaasasire.#Es 3:14 9Awo Kasaki n'ajja n'abuulira Eseza ebigambo bya Moluddekaayi. 10Awo Eseza n'ayogera ne Kasaki n'amuwa obubaka obw'okutwalira Moluddekaayi, nti, 11“Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu, oyo y'aba omulamu. Naye nze siyitibwanga kuyingira eri kabaka mu nnaku zino asatu.”#Es 6:4 12Awo ne babuulira Moluddekaayi ebigambo bya Eseza. 13Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti, “ Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe olw'okubeera mu nnyumba ya kabaka ogenda okuwona okusinga Abayudaaya bonna. 14Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira. Era ani amanyi oba nga ozze mu bwa kaddulubaale olw'ebiro ebifaanana nga bino?”#Lub 45:7; 50:2 15Awo Eseza n'abalagira okuddiza Moluddekaayi ebigambo nti, 16“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, mu nsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo, bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka; era bwe ndizikirira, ndizikirira.”#Lub 43:14 17Awo Moluddekaayi n'addayo n'akola nga byonna bwe byali Eseza by'amulagidde.

Currently Selected:

Eseza 4: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in