Bible App logo
Search Icon

Eseza 3

3
Olukwe lw'okuzikiriza Abayudaaya n'obuvumu bwa Eseza
(3:1—9:17)
Kamani akola olukwe okuzikiriza Abayudaaya
1Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n'amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye.#1 Sam 15:32,33 2Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka, ne bavunnamiranga Kamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Naye Moluddekaayi n'atamuvuunamiranga era n'atamuwa kitiibwa.#Es 5:9 3Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne babuuza Moluddekaayi nti, “ Lwaki togondera kiragiro kya kabaka?” 4Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba oba nga anaagumikiriza enneyisa ya Moluddekaayi; kubanga Moluddekaayi yali ababuulidde nga Muyudaaya. 5Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, kale Kamani n'ajjula obusungu. 6Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali, Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi. 7Awo mu mwezi ogwolubereberye, gwe mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.#Es 9:24,26 8Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti, “Waliwo eggwanga ly'abantu abasaasaanye ne babuna mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka, bw'ekityo tekigasa kabaka okubagumiikiriza.#Ma 4:8, Bik 16:20,21 9Kabaka bw'anaasiima, ayise etteeka eriragira bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza omutwalo gumu (10,000), mu ggwanika ly'obwakabaka; nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.” 10Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya.#Lub 41:42, Es 7:6; 8:1,2 11Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Effeeza ngikuwadde, era n'abantu n'abo obakole nga bw'osiima.” 12Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali; mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.#1 Bassek 21:8, Es 1:22; 8:8-10 13Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abavubuka n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi ogwa Adali, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago.#2 Byom 30:6 14Ebyaggibwa mu kiwandiiko ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.#Es 8:13,14 15Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka lyateekebwawo mu kibuga ekikulu Susani. Awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; kyokka ng'ekibuga ekikulu Susani kisobeddwa.

Currently Selected:

Eseza 3: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in