Bible App logo
Search Icon

Eseza 5

5
Eseza ateekateeka embaga
1Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya Nnaabagereka, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka, kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba. 2Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge, kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.#Es 4:11; 8:4 3Awo kabaka n'alyoka amugamba nti, “Oyagala ki, Nnaabagereka Eseza? Era kiki ky'osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.”#Es 7:2; 9:12, Mak 6:23 4Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero ku embaga gye mmufumbidde.” 5Awo kabaka n'ayogera nti, “Mwanguye okuleeta Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde.” Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye. 6Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Osaba ki? Kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.” 7Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti, “Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino; 8oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje nate ku embaga gye nnaabafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.”
Kamani akola olukwe okutta Moluddekaayi
9Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo. Naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira wadde okumusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.#Es 3:5 10Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka, n'atumya mikwano gye n'agamba ne Zeresi mukazi we okubeegattako. 11Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe byenkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.#Es 3:1; 9:7-10 12Era Kamani n'ayogera nti, “Weewaawo, ne Nnaabagereka Eseza teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka ku embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka 13Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka.”#Es 2:19 14Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti, “Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo; kale olyoke oyingire ne kabaka ku embaga ng'osanyuka.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'azimbisa ekitindiro.

Currently Selected:

Eseza 5: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in